Okwogera bino abadde mukubatuza abalongo ba Meeya wa Kira Municipality Ssaalongo Julius Mutebi nagamba nti kyekiseera Gavumenti esseewo ebisannyizo byeyetaaga nga bweyakikola kubutale , olwo amasinzizo gasobole okugulwawo.
Angambye nti abantu buli lwebalwawo okukungaana beerabira Katonda olwo nekibaviirako okwenyigira mubikolwa ebyokusamira nokugoberera ebintu ebitali Katonda.
Mu ngeri yeemu Msgr Katende avumiridde abakulembeze b'amasinzizo abakozesa akatuuti nebawa bannabyabufuzi emizindaaalo okubuuza ku Bantu kyagamba nti kikyamu.