Wednesday, October 14, 2020

Kkooti ekkirizza Kato Lubwama okujjulira

Kkooti ekkirizza Kato Lubwama okujjulira

KKOOTI ejulirwamu ekkirizza omubaka wa Lubaga South Kato Lubwama okujulira mu musango gw'obutasoma Habib Buwembo gwe yamuloopa.
Buwembo yaloopa Kato mu 2016 ng'awakanya ebitabo bya Kato eby'obuyigirize ng'agamba nti tebimusobozesa kukiikirira bantu mu Palamenti.
Omusango Buwembo yalina kuguloopa nga waakayita ennaku 60 nga Kato yaakalangirirwa ku buwanguzi ng'amateeka bwe gakirambika kyokka yaloopa wayise emyezi esatu.
Mu kkooti Buwembo yasooka kusaba lukusa aleete omusango wadde nga ennaku 60 zaali zaggwaako era omulamuzi Margret Oguli Oumo n'amukkiriza ekintu ekitaasanyusa Kato naye n'agenda mu kkooti ejulira ng'agisaba olukusa ajulire ng'awakanya ensala y'omulamuzi Oguli.
Kato yategeeza kkooti nti abakola amateeka g'ebyokulonda balina ensonga lwaki baateekawo ebbanga lya nnaku 60 omuntu mw'alina okuloopera.
Abalamuzi basatu okwabadde Geoffrey Kiryabwire, Elizabeth Musoke ne Irene Mulyagonja be bakkirizza okusaba kwa Kato okw'okumukkiriza okujulira. Baategeezezza nti Kato alina ensonga ezirimu eggumba ze

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts