Wednesday, January 27, 2021

Babiri balumiziddwa mu kabenje e Kisowera

Babiri balumiziddwa mu kabenje e Kisowera





Sam Otuba akulira abakuumi ku ssomero lya St. Cyprian e Kyabakadde mu ggombolola y'e Kyampisi mu disitulikiti y'e Mukono emmotoka ekika kya Harrier nnamba UAP 387N gw'etomeredde e Kisowera mu maaso g'essomero lya SONAMS ery'ekkanisa erisomesa abasawo.

Akabenje kano kaaguddewo ku Lwokubiri akawungeezi ssaawa ng'emu n'ekitundu (1:30) Otuba eyabadde avuga pikipiki Bajaj nnamba UFD 416R ng'aweese ensawo y'amanda n'omuwala eyategeerekeseeko erya Susan ng'ono yasangiddwa mu ddwaliro e Naggalama gye baddusiddwa ng'ambeera gy'alimu si nnungi.

Stephen Erotu akola ne Otuba yategeezezza nti ono yamenyese okugulu okwa ddyo n'alumizibwa n'okufuna ebiwundu ku mutwe.

Faisal Jagenda omu badduukirize yagambye nti omugoba wa mmotoka eyakoze akabenje yabadde ayisa emmotoka nga bbiri olwo eyiye kwe kwabika omupiira n'ewaba n'egenda etomera abaabadde ku bodaboda.

Jagenda yagambye nti oluvannyuma lw'okukola akabenje, ddeerav w'emmotoka yalinnye bodaboda n'adduka.

Emmotoka yayoyoonose mu maaso sso nga yo pikipiki nayo yagigoyezza nnyo.

Ab'amagye okuva mu nkambi e Mpoma baayitiddwa okulaba nga bakuuma emmotoka n'ebintu ebyabaddemu obutabbibwa ng'era bano oluvannyuma baakolaganye ne poliisi y'e Mukono eyazze mu kiro n'esikaawo emmotoka n'egitwala ku poliisi e Mukono.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts