Bbanka Enkulu bwe yaggalawo Crane Bank 2016 n'egiguza aba DFCU, baakozesa bbanka ya Sudhir (Crane bank] okuloopa Sudhir nga bagamba nti ye yagiviirako okugwa bwe yagiggyamu ssente ezisoba mu buwumbi 400 ng'aziteeka mu bizinenis ze endala mu ngeri enkyamu kyokka n'atazizzaamu.
Bbanka Enkulu yasaba kkooti eragire Sudhir azzeeyo ssente zino. Omusango gwasooka mu kkooti etawuluza enkaayana z'abasuubuzi era omulamuzi David Wangutusi n'agugoba ng'awa ensonga nti mu 2016 DFCU yali emaze okugula Crane Bank n'ebyobugagga byayo byonna ekitegeeza nti yali tekyaliwo nga mu mbeera eno baali tesobola kuwaaba Crane Bank yadde okuwaabirwa oba okulagirwa yeewozeeko kubanga gwali gufuuse muzimu nga tegukyalabibwa.
Omulamuzi yalagira baliyirire Sudhir, Bbanka Enkulu kwe kweyongerayo mu kkooti ejulirwamu kyokka nayo okusaba kwabwe kugudde butaka.
Abalamuzi bagambye nti tebasobola kwawukana na mulamuzi munnaabwe Wangutusi kubanga obujulizi bwonna bulaga nti baakola nsobi okuleeta Sudhir mu kkooti ne kkampuni ye eya Meera Investments.
Ye Sudhir agambye nti obulimba bwonna bbanka Enkulu bw'ebadde egamba abantu kkooti ebuggyeeyo mu lwatu n'agamba nti Pulezidenti Museveni agezezzaako okugogola Bbanka Enkulu era kati ka basuubire nti emivuyo tegigenda kuddamu kubaamu.
Ayongeddeko nti Bbanka Enkulu baabulankanya ssente obuwumbi 290 ne batandiika okuteekawo obulimba bwa Crane Bank naye kati kkooti ebavuddemu .
Yagambye nti ku ky'okumuliyirira agenda kutuula ne balooya be balabe ssente ze basaasaanyiza naye zirina okubeera mu bukadde bwa ddoola.