Babadde bazikkirizaamu abantu basatu bokka. Museveni era yakkirizza ebidduka okuddamu okukola mu disitulikiti ezimu eziri ku nsalo ezisangiddwa nga teziriimu buzibu bunene, omuli; Buvuma, Kalangala, Hoima, Kikuube n'endala. Wabula disitulikiti okuli Rakai, Kyotera, Busia n'endala ezirimu obuzibu obunene, okutambula kwa mmotoka ez'obuyonjo n'ez'olukale kukyagaaniddwa okutuusa embeera ng'ekkakkanyeemu. NNATTI KU BODABODA Museveni yalagidde bodaboda zisigale nga zitambuza migugu n'ebitereke byokka, kubanga akaseera Uganda k'erimu kati, obulwadde buli mu bantu mu bitundu byabwe (tebukyali mu bavuzi ba lukululana bokka), ng'okukkiriza bodaboda okutambuza abantu kibeera kya bulabe. Aba bodaboda baabadde bayiiyizza akalabirwamu akaawula omuvuzi ku musaabaze ne bakeesigamako okusaba Gavumenti ebakkirize okuddamu okusaabaza abantu, wabula Museveni yagambye nti wadde okuyiiya kulungi, naye akalabirwamu kano ate kasobola okutereka akawuka okumala ebbanga eddene ne kakwata buli musaabaze abeera atambulidde ku bodaboda eyo. We yayogeredde eggulo, ng'omuwendo gw'abalwadde ba Corona mu ggwanga guweze 774, ate ng'abawonye ne basiibulwa bali 631. Kitegeeza nti kati abalwadde ba Corona abakyajjanjabwa mu malwaliro basigadde143 bokka. Pulezidenti mu kwogerako eri eggwanga eggulo ng'asinziira e Nakasero, ne Katikkiro wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda yabaddewo; era gwe mulundi gwe ogwasoose okuddamu okulabikako mu maka g'Obwapulezidenti, okuva lwe yeeyawula nga June 3, n'abeera mu maka ge oluvannyuma lw'abayambi be babiri okukwatibwa Corona. Rugunda nga y'akulira akakiiko ak'oku ntikko akalwanyisa Corona yamazeeyo ennaku 14 abasawo ze balagira, n'addamu okukeberwa ne kikakasibwa nti teyakwatibwa Corona. ESSUUBI KU MASINZIZO NE AKEEDI Ku Akeedi, Museveni yagambye nti bannannyini zo baakukwatagana ne minisitule y'ebyobusuubuzi, KCCA n'abakulembeze abalala abakwatibwako, baakukwatagane n'akakiiko ka Dr. Rugunda ne Minisitule y'Ebyobulamu okulaba eze ezisobola okuggulawo mu kugezesa, kiyambe okusalawo ekiddako. Kyokka yalaze omutawaana oguli mu Akeedi nga n'ezimu tezirina mmotoka we zisimba, ewadde emiryango egy'enkalakkalira, sso ng'era kizibu n'okulondoola abakoleramu ne bakaasitooma ababa ba- zigenzeemu okugulayo ebintu. Museveni yagambye nti waliwo bannaddiini ababadde basaba amasinzizo gaggulwewo, n'awabula nti kijja kuba kya bulabe kubanga obulwadde buli mu bantu nga bwe bakkirizibwa okukung'aanira mu masinzizo kibeera kizibu okussa mu nkola ebiragiro by'okwewala Corona. Yagambye nti bannaddiini baakukwatagana n'akakiiko akalwanyisa Corona okwongera okwogeraganya ku nsonga eno. Ku kya ssaaluuni, Museveni yagambye nti ezo kizibu okussa mu nkola ebiragiro by'okwewala Corona ,n'alagira zisigale nga nziggale. Abatembeeyi nabo yagambye nti okubaleka ne bava wano nga bwe badda wali kya bulabe ekiyinza okuvaako okusaasaana kwa Corona. Yannyonnyodde nti ebiti ebikoseddwa ennyo ng'abakola mu ssaaluuni balina okuwandiisibwa, Gavumenti erabe bw'esobola okubawagira nga bazzeemu okukola oba okutandikawo emirimu emirala. Ku butale bw'omubuulo naddala obutunda ente n'ebirime, yalagidde Minisitule Y'obulimi N'obulunzi ekwatagane n'Ey'ebyobulamu okulaba bwe butegekebwa mu ngeri ebusobozesa okuddamu okukola. AMASOMERO GAAKUSIGALA NGA MAGGALE Museveni yagambye nti abazadde balina okuba abagumiikiriza kubanga kijja kuba kya bulabe okuggula amasomero. Yagambye nti abayizi okusigala awaka kiyambyeko okubakuuma nga balamu n'agamba nti okubazza ku masomero nga tewali ddagala ligema Corona ate nga n'obulwadde buli mu bantu kiyinza okuteeka obulamu bw'abaana mu katyabaga. Yakkaatirizza nti Gavumenti egenda kugula leediyo zisaasaanyizibwe mu bantu okuyamba abaana okusomerako, sso ng'era baakwongera okusaasaanya n'ebisomesebwa ebikubiddwa mu kyapa. Eky'okugula ttivvi ne zigabwa ku byalo, yagambye nti kikyetegerezebwa abakugu basalewo oba kinaakola. AKALULU N'ENKUNG'AANA Museveni yagambye nti mu kulonda kw'omwaka ogujja, akakiiko k'eby'okulonda kaakiraba nga kisoboka okutegeka ebifo abantu we bakubira akalulu nga bagoberera ebiragiro by'ebyobulamu, kyokka obuzibu bwasigala ku kukuba nkung'aana. Yagambye nti akakiiko kaasalawo abanaaba beesimbyewo bakozese leediyo, ttivvi, empapula z'amawulire ne yintaneti okunoonya akalulu, n'asaba Bannayuganda okugoberera enteekateeka eno okwewala okuteeka obulamu bw'abantu mu katyabaga. Okufuluma n'okuyingira eggwanga kwasigaddeko nnatti kyokka abalina ensonga ezeekuusa ku kufuna obujjanjabi baakukwatagana ne Minisitule y'Ebyobulamu ebasunsulemu. Okuzza emirambo egiriko empapula eziraga nti omuntu oyo teyafudde Corona kwakkiriziddwa kyokka kulina kugoberera ebiragiro ebinaaba biweereddwa Minisitule y'Ebyobulamu. KAAFIYU ASIGADDEWO Kaafiyu waakusigalawo ng'atandika ku ssaawa 1:00 ey'akawungeezi okutuuka ku ssaawa 12:30 ku makya. Yagambye nti ono takoma ku byakwerinda byokka, wabula ayamba ne mu kukugira abantu okudda mu bintu ebirala nga bavudde ku mirimu, gamba ng'okudda mu kukyalaganira n'okukung'aana; ekyongera obuzibu ku kusaasaana kwa Corona. Yagambye nti Uganda yazzaayo abalwadde 167 abaali bavudde mu mawanga amalala,wadde waaliwo okusika omuguwa n'ekitongole ekivunaanyizibwa ku byobulamu mu nsi yonna (WHO) nga baagala omuwendo ogwo gugattibwe ku balwadde ba Uganda. PULEZIDENTI Museveni agonderezza mu b'emmotoka eza buyonjo, n'akkiriza zitambuze abantu bana nga ne ddereeva omubaliddeko, kyokka bonna balina okubeera na masiki. Babadde bazikkirizaamu abantu basatu bokka. Museveni era yakkirizza ebidduka okuddamu okukola mu disitulikiti ezimu eziri ku nsalo ezisangiddwa nga teziriimu buzibu bunene, omuli; Buvuma, Kalangala, Hoima, Kikuube n'endala. Wabula disitulikiti okuli Rakai, Kyotera, Busia n'endala ezirimu obuzibu obunene, okutambula kwa mmotoka ez'obuyonjo n'ez'olukale kukyagaaniddwa okutuusa embeera ng'ekkakkanyeemu. NNATTI KU BODABODA Museveni yalagidde bodaboda zisigale nga zitambuza migugu n'ebitereke byokka, kubanga akaseera Uganda k'erimu kati, obulwadde buli mu bantu mu bitundu byabwe (tebukyali mu bavuzi ba lukululana bokka), ng'okukkiriza bodaboda okutambuza abantu kibeera kya bulabe. Aba bodaboda baabadde bayiiyizza akalabirwamu akaawula omuvuzi ku musaabaze ne bakeesigamako okusaba Gavumenti ebakkirize okuddamu okusaabaza abantu, wabula Museveni yagambye nti wadde okuyiiya kulungi, naye akalabirwamu kano ate kasobola okutereka akawuka okumala ebbanga eddene ne kakwata buli musaabaze abeera atambulidde ku bodaboda eyo. We yayogeredde eggulo, ng'omuwendo gw'abalwadde ba Corona mu ggwanga guweze 774, ate ng'abawonye ne basiibulwa bali 631. Kitegeeza nti kati abalwadde ba Corona abakyajjanjabwa mu malwaliro basigadde143 bokka. Pulezidenti mu kwogerako eri eggwanga eggulo ng'asinziira e Nakasero, ne Katikkiro wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda yabaddewo; era gwe mulundi gwe ogwasoose okuddamu okulabikako mu maka g'Obwapulezidenti, okuva lwe yeeyawula nga June 3, n'abeera mu maka ge oluvannyuma lw'abayambi be babiri okukwatibwa Corona. Rugunda nga y'akulira akakiiko ak'oku ntikko akalwanyisa Corona yamazeeyo ennaku 14 abasawo ze balagira, n'addamu okukeberwa ne kikakasibwa nti teyakwatibwa Corona. ESSUUBI KU MASINZIZO NE AKEEDI Ku Akeedi, Museveni yagambye nti bannannyini zo baakukwatagana ne minisitule y'ebyobusuubuzi, KCCA n'abakulembeze abalala abakwatibwako, baakukwatagane n'akakiiko ka Dr. Rugunda ne Minisitule y'Ebyobulamu okulaba eze ezisobola okuggulawo mu kugezesa, kiyambe okusalawo ekiddako. Kyokka yalaze omutawaana oguli mu Akeedi nga n'ezimu tezirina mmotoka we zisimba, ewadde emiryango egy'enkalakkalira, sso ng'era kizibu n'okulondoola abakoleramu ne bakaasitooma ababa ba- zigenzeemu okugulayo ebintu. Museveni yagambye nti waliwo bannaddiini ababadde basaba amasinzizo gaggulwewo, n'awabula nti kijja kuba kya bulabe kubanga obulwadde buli mu bantu nga bwe bakkirizibwa okukung'aanira mu masinzizo kibeera kizibu okussa mu nkola ebiragiro by'okwewala Corona. Yagambye nti bannaddiini baakukwatagana n'akakiiko akalwanyisa Corona okwongera okwogeraganya ku nsonga eno. Ku kya ssaaluuni, Museveni yagambye nti ezo kizibu okussa mu nkola ebiragiro by'okwewala Corona ,n'alagira zisigale nga nziggale. Abatembeeyi nabo yagambye nti okubaleka ne bava wano nga bwe badda wali kya bulabe ekiyinza okuvaako okusaasaana kwa Corona. Yannyonnyodde nti ebiti ebikoseddwa ennyo ng'abakola mu ssaaluuni balina okuwandiisibwa, Gavumenti erabe bw'esobola okubawagira nga bazzeemu okukola oba okutandikawo emirimu emirala. Ku butale bw'omubuulo naddala obutunda ente n'ebirime, yalagidde Minisitule Y'obulimi N'obulunzi ekwatagane n'Ey'ebyobulamu okulaba bwe butegekebwa mu ngeri ebusobozesa okuddamu okukola. AMASOMERO GAAKUSIGALA NGA MAGGALE Museveni yagambye nti abazadde balina okuba abagumiikiriza kubanga kijja kuba kya bulabe okuggula amasomero. Yagambye nti abayizi okusigala awaka kiyambyeko okubakuuma nga balamu n'agamba nti okubazza ku masomero nga tewali ddagala ligema Corona ate nga n'obulwadde buli mu bantu kiyinza okuteeka obulamu bw'abaana mu katyabaga. Yakkaatirizza nti Gavumenti egenda kugula leediyo zisaasaanyizibwe mu bantu okuyamba abaana okusomerako, sso ng'era baakwongera okusaasaanya n'ebisomesebwa ebikubiddwa mu kyapa. Eky'okugula ttivvi ne zigabwa ku byalo, yagambye nti kikyetegerezebwa abakugu basalewo oba kinaakola. AKALULU N'ENKUNG'AANA Museveni yagambye nti mu kulonda kw'omwaka ogujja, akakiiko k'eby'okulonda kaakiraba nga kisoboka okutegeka ebifo abantu we bakubira akalulu nga bagoberera ebiragiro by'ebyobulamu, kyokka obuzibu bwasigala ku kukuba nkung'aana. Yagambye nti akakiiko kaasalawo abanaaba beesimbyewo bakozese leediyo, ttivvi, empapula z'amawulire ne yintaneti okunoonya akalulu, n'asaba Bannayuganda okugoberera enteekateeka eno okwewala okuteeka obulamu bw'abantu mu katyabaga. Okufuluma n'okuyingira eggwanga kwasigaddeko nnatti kyokka abalina ensonga ezeekuusa ku kufuna obujjanjabi baakukwatagana ne Minisitule y'Ebyobulamu ebasunsulemu. Okuzza emirambo egiriko empapula eziraga nti omuntu oyo teyafudde Corona kwakkiriziddwa kyokka kulina kugoberera ebiragiro ebinaaba biweereddwa Minisitule y'Ebyobulamu. KAAFIYU ASIGADDEWO Kaafiyu waakusigalawo ng'atandika ku ssaawa 1:00 ey'akawungeezi okutuuka ku ssaawa 12:30 ku makya. Yagambye nti ono takoma ku byakwerinda byokka, wabula ayamba ne mu kukugira abantu okudda mu bintu ebirala nga bavudde ku mirimu, gamba ng'okudda mu kukyalaganira n'okukung'aana; ekyongera obuzibu ku kusaasaana kwa Corona. Yagambye nti Uganda yazzaayo abalwadde 167 abaali bavudde mu mawanga amalala,wadde waaliwo okusika omuguwa n'ekitongole ekivunaanyizibwa ku byobulamu mu nsi yonna (WHO) nga baagala omuwendo ogwo gugattibwe ku balwadde ba Uganda.
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...