Friday, July 17, 2020

Omutendesi Makumbi atiisizza okusuulawo Kiboga Young ng'egenda mu 'Play offs'

Omutendesi Makumbi atiisizza okusuulawo Kiboga Young ng'egenda mu 'Play offs'





Ku ntandikwa ya sizoni eno, Makumbi yateeka omukono ku ndagaano ya myaka esatu ng'ava mu Kitara FC, ebuzaako emyaka ebiri wabula agamba nti tagenda kuguminkiiriza kugimalako olwa bakamaabe okuyingirira emirimu gye n'okulengezza by'akola.

Makumbi agamba nti mu ndagaano mwalimu okuyambibwako ku bujjanjabi, entambula, ensako ez'enjawulo wamu n'omusaala wabula bino tebimusasuddwa nga bwe yali asuubiziddwa kw'ossa abakungu ba ttiimu okumukakaatikako abantu abalala nti bamuyambe mu kulonda ttiimu eneezannya ekiraga nti banyooma by'akola.

"Nze bw'ompa omulimu, njagala n'obuyinza n'obunteera okukola ekyo kyendaba nga kye kisaana naye ate bw'otuuka n'oyingirira byenkola kimpisa bubi nnyo, ekirala obutansasula oba onyigiriza obulamu bwange, era bino bye bimu ku bigenda okundesaawo ttiimu eno," Makumbi bwe yeemulugunyizza.

Wyclif Mwambu ssentebe wa Mbale Heroes agamba nti kituufu Makumbi abanja era y'ensonga lwaki waliwo embeera gy'aleeseewa naye ttiimu ebadde terina ssente wabula basuubiza nti bajja kumusasula mpola mpola ssinga embeera y'emirimu edda mu nteeko.

"Makumbi kituufu abanja emyezi egiwerako naye tugenda kutuula naye ku nsonga eno kuba tukakasa tujja kumusasula, wabula bw'aba ayagala okugenda tusaba atuguminkirizeemu tusooke tuzannye ‘Play offs' za Big League," Mwambu bwe yategeezezza.

Ku mipiira 9 Makumbi gy'abadde mu mitambo gya Mbale Heroes, awanguddeko 4 n'amaliri ga mirundi etaano, ekyagitadde mu kifo kya kubiri mu kibinja kya Elgon n'obubonero 17 emabega wa MYDA FC (21) eyayingira ‘Super'.

Ssinga Makumbi ayambako Kiboga Young okwesogga ‘Super' ajja kuba awezezza ttiimu 11 mu byafaayo z'akikoledde.  Asuumusizza; UTODA FC, Scoul FC(1995), Iganga T/C (1997), Buikwe Red Stars(2004), Fire Masters(2005), Bunamwaya kati eyitibwa Vipers SC(2006), Bul Bidco(2009), Soana(2011), Mbarara City (2016) ne Stima FC eya Kenya (2018).

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts