Friday, July 17, 2020

Seya Sebaggala ne Dr. Stella Nyanzi bongedde ebbugumu mu People Power

Seya Sebaggala ne Dr. Stella Nyanzi bongedde ebbugumu mu People Power





Sebaggala ayagala okuvuganya ku bwa Loodi Meeya wa Kampala yeeyogeddeko ng'omu ku baatendeka Bobi Wine eby'obufuzi era abadde tayinza kumulekerera mu lutalo lw'okununula eggwanga. Stella Nyanzi yavudde ku FDC gye yaggye empapula ezimukkiriza okuvuganya ku kifo ky'omubaka omukazi owa Kampala.

Abalala abaasoose okuggyayo empapula kuliko; Mathias Mpuuga avuganya mu divizoni ye Nyendo -Mukungwe eya Masaka City. Yagambye tagenda kuvuganyiza ku kaadi ya DP.

Muwanga Kivumbi azzeeyo e Butambala, Medard Sseggona (Busiro East) eyeeyogeddeko nga Ssaabawandiisi wa DP n'agamba nti tebava ku kisinde mu mbeera yonna.

Bannamawulire okuli; Innocent Tegusulwa naye yazikomezzaawo era ayagala bwa kkansala ku lukiiko lwa KCCA ng'akiikirira ab'e Kirombe Luzira ne Butabika.

Munnamawulire omulala, Joseph Ssettimba naye yazzizzaayo empapula z'okuvuganya ku bwa kkansala ku lukiiko lwa KCCA ng'akiikirira emiruka esatu egya Lubaga North okuli; Nakulabye, Namirembe-Bakuli ne Lungujja. Omuyimbi wa Kadongokamu Mathias Walukagga naye yazzizzaayo empapula z'okuvuganya ku kya meeya we Kyengera Town Council ekirimu Haji Abdu Kiyimba eyagenze okuvuganya ku bubaka bwa Palamenti e Bukoto South.

Tony Ssempeebwa, ssentebe wa Kasangati Town Council naye yazzizzaayo empapula asobole okuvuganya e Kyadondo East awakiikirirwa Robert Kyagulanyi (Bobi Wine). Muwada Nkunyingi naye avuganya ku kifo kye kimu n'awera nti y'alina embavu ezidda mu bigere bya Bobi Wine.

Kasiita Bukenya, ssentebe wa DP mu Busiro North ayagala kuvuganya Galabuzi Ssozi mu Busiro North, ekifo eyaliko omumyuka wa Pulezidenti, Gilbert Bukenya kye yalaze nti naye akyakyetaaga. Fred Sekyanzi omulema w'okugulu okumu ayagala kusiguukulula Pentagon Kamusiime owe Butemba mu disitulikiti ye Kyankwanzi.

Allan Mayanja Sebunya, sipiika w'olukiiko lw'abavubuka mu Buganda naye yazzizzaayo empapula z'okuvuganya e Nakaseke North awali Syda Bumba.

Godfrey Kayemba Solo agenda kuvuganya Bukomansimbi South awali Deogratius Kiyingi ne Denis Katongole Omutongole agenda Bbaale mu disitulikiti ye Kayunga. Joel Sennyonyi omwogezi wa People Power yategeezezza nti abantu bajjumbidde okuzzaayo empapula.

Bassentebe ne bakansala ku magombolola bali 1,251, abaggyeeyo empapula z'obwassentebe ne bakansala ku disitulikiti bali 369. Abaagala obubaka bwa Palamenti bali 457.

EBBUGUMU eriri ku kitebe
ky'ekisinde kya People Power
e Kamwokya lyeyongedde, Haji
Nasser Ntege Sebaggala ne Dr.
Stella Nyanzi bwe bakomezzaawo
empapula ne beeyama okuwagira
Bobi Wine mu kalulu ka 2021.
Sebaggala ayagala okuvuganya
ku bwa Loodi Meeya wa Kampala
yeeyogeddeko ng'omu ku baatendeka
Bobi Wine eby'obufuzi
era abadde tayinza kumulekerera
mu lutalo lw'okununula eggwanga.
Stella Nyanzi yavudde ku FDC
gye yaggye empapula ezimukkiriza
okuvuganya ku kifo
ky'omubaka omukazi owa Kampala.
Abalala abaasoose okuggyayo
empapula kuliko; Mathias
Mpuuga avuganya mu divizoni ye
Nyendo -Mukungwe eya Masaka
City. Yagambye tagenda kuvuganyiza
ku kaadi ya DP.
Muwanga Kivumbi azzeeyo e
Butambala, Medard Sseggona
(Busiro East) eyeeyogeddeko nga
Ssaabawandiisi wa DP n'agamba
nti tebava ku kisinde mu mbeera
yonna.
Bannamawulire okuli; Innocent
Tegusulwa naye yazikomezzaawo
era ayagala bwa kkansala ku
lukiiko lwa KCCA ng'akiikirira
ab'e Kirombe Luzira ne Butabika.
Munnamawulire omulala, Joseph
Ssettimba naye yazzizzaayo
empapula z'okuvuganya ku bwa
kkansala ku lukiiko lwa KCCA
ng'akiikirira emiruka esatu egya
Lubaga North okuli; Nakulabye,
Namirembe-Bakuli ne Lungujja.
Omuyimbi wa Kadongokamu
Mathias Walukagga naye yazzizzaayo
empapula z'okuvuganya
ku kya meeya we Kyengera
Town Council ekirimu Haji Abdu
Kiyimba eyagenze okuvuganya ku
bubaka bwa Palamenti e Bukoto
South.
Tony Ssempeebwa, ssentebe
wa Kasangati Town Council naye
yazzizzaayo empapula asobole
okuvuganya e Kyadondo East
awakiikirirwa Robert Kyagulanyi
(Bobi Wine). Muwada Nkunyingi
naye avuganya ku kifo kye kimu
n'awera nti y'alina embavu ezidda
mu bigere bya Bobi Wine.
Kasiita Bukenya, ssentebe wa
DP mu Busiro North ayagala kuvuganya
Galabuzi Ssozi mu Busiro
North, ekifo eyaliko omumyuka
wa Pulezidenti, Gilbert Bukenya
kye yalaze nti naye akyakyetaaga.
Fred Sekyanzi omulema
w'okugulu okumu ayagala kusiguukulula
Pentagon Kamusiime
owe Butemba mu disitulikiti ye
Kyankwanzi.
Allan Mayanja Sebunya, sipiika
w'olukiiko lw'abavubuka mu Buganda
naye yazzizzaayo empapula
z'okuvuganya e Nakaseke North
awali Syda Bumba.
Godfrey Kayemba Solo agenda
kuvuganya Bukomansimbi South
awali Deogratius Kiyingi ne Denis
Katongole Omutongole agenda
Bbaale mu disitulikiti ye Kayunga.
Joel Sennyonyi omwogezi
wa People Power yategeezezza
nti abantu bajjumbidde okuzzaayo
empapula. Bassentebe ne
bakansala ku magombolola bali
1,251, abaggyeeyo empapula
z'obwassentebe ne bakansala ku
disitulikiti bali 369.
Abaagala obubaka bwa Palamenti
bali 457.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts