Egimu ku misango egyayogeddwako mulimu ogwokweyisa mu ngeri etategerekeka ogumnayiddwa nga "common nuisance", okuteeberezebwa nti wandiba omubbi, okwonoona empewo okugeza ng'otambula owunya n'emirala.
Enanga yagambye nti emisango gino ku tteeka lya Penal Cord gikyalimu era bwe bakukwata fayiro n'etwalibwa ew'omuwaabi wa Gavumenti omukulu okugiyitmu n'akkiriza okuvunaanibwa poliisi ebeera erina okutwala mu kkooti era n'osibibwa mu kkomera omulamuzi bw'aba alagidde.
Yagambye ku musango ng'ogwokubeera 'idle' Pulezidenti Museveni gwe yalagira bakome okukuguvunaana abantu mu tteeka lya Penal Cord gukyalimu ekitegeeza nti gukyabalibwa ng'omusango.
Bino Enanga yabyogeredde mu lukung'aana olwategekeddwa ab'ekitongole ky'obwannakyewa ekya Human Rights Awareness and Promotion Forum [HRAPF] nga bali wamu n'akakiiko akakwasissa eddemba aka Uganda Human Rights Commission [UHRC] mwe baabadde bakubaganyiza ebirowoozo n'ebitongole bya gavumenti ebyenjawulo ku nsonga y'okuggya obusango buno mu tteeka lya Penal cord.
Ruth Ssekindi okuva UHRC yagambye nti obusango buno bwatandikibwawo abafuzi bamatwale nga bagala okunafuya, okuteeka wansi abaddugavu n'okubalaga nti bawansi nnyo ku bbo kyokka bukyanga Uganda efuna obwetwaze era ekyatambulira ku mateeka ge gamu agaali gassa wansi omuddugavu.
Yagambye nti n'engeri emisango gino gye gyawandiikibwa mu Penal Cord kizibu okuginnyonnyola omuntu n'agitegeera bulungi era bw'ogusomera omuntu gubeera tegukola makulu kubanga oyinza okusanga omuntu n'omuvunaana omusango gw'okwonoona empewo olwokuba awunya ng'ate akola mulimu gwa kwettika kasasiro.
Ye omubaka Asuman Basalirwa atuula ku kakiiko k'amateeka mu Palamenti yagambye nti Palamenti yali etandiise okuleeta ekiteeso ky'okukola ennongoosereza mu mateeka agamu kyokka Ssabawolereza wa gavumenti n'abaggyako omulimu guno ng'agamba nti ensonga eno be bagenda okugiwomanu omutwe.