OMUVUBUKA agambibwa okuba mu kibinja ekibba ebyamaguzi ku mmotoka z'abantu mu kalippagano k'ebidduka poliisi emutaasizza ku bantu ababadde baagala okumutta.
Robert Ssebumba 37 emagombe yasimbyeyo kitooke! Bw'ekiba kituufu nti yabadde abba obusawo bw'omuceere ku mmotoka eyabadde mu kalippagano k'ebidduka ku Kaleerwe ayinza obutaddamu kubba olw'entimpula gye baamukubyemu ne batuuka n'okumwasa emimwa .