Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza amabugo mu nsawo za bannaabwe ensi ebaddugalidde.
Abakuumaddembe babakutte ne babasika empale ne babakunguzza okubatwala ku poliisi ne babaggalira. Kigambibwa abamu baabadde bakwata abakungubazi mu nsawo mbu nga banoonya amabugo ate abalala nga banyakula ssimu.
Abantu olwabeekengedde kwe kutemya ku poliisi eyayingiddewo n'ebakwata. Abamu baabatutte bawoloma nga bawoza nti si babbi babalanga bwemage. Bya Lawrence Mukasa.