Saturday, October 31, 2020

Abantu ab'ettima basaayidde omutuuze olusuku

Abantu ab'ettima basaayidde omutuuze olusuku

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako yiika emu ne balusaawa.

Kino abatuuze baakitadde ku bigambibwa nti waliwo ababadde bamulumiriza okuba omulogo n'omutemu ku byalo Lwayebere gyasula.

Abatuuze mu lusuku olwasaayiddwa.

    Ssentebe w'ekyalo kino, Peter Ssennyimba yategeezeza ng'ensonga z'omukyala ono abatuuze gwe balumiriza okubakolako obulogo bwe yaziwulirako wabula n'asaba gavumenti esitukiremu basalemu ekyalo kino kuba kisusse obunene nga n'ekikolwa ekyakoleddwa yaluddewo okukitegeera.

    Ye akulira ebyokwerinda mu ggombolola y'e Lwengo Javiira Matovu ategeezeza ng'ensonga z'omukyala ono bwe babadde bagenda okuzituulamu n'abakulu abamusingako kubanga obulogo n'ettemu bye bamulumiriza bibadde bimususseeko. Yasabye abatuuze okukomya okutwalira amateeka mu ngalo.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts