Bya Rosemary Nakaliri
Abatuuze b'e Ttula mu zzooni ya Kalumba mu muluka gwe Kawempe beeraliikirivu nti bandirumbibwa endwadde eziva ku bucaafu olwa kasasiro abasusseeko obungi olw'okubulwa we abamukungaanyiza ekireetera abamu okumuyiwa mu nguudo ne mu myala amazzi ne ganjaala mu biseera by'enkuba.
Bano okulaajana kuno baakukozeoluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky'obwa kkansala bw'omuluka guno okukulemberamu abatuuze okukola bulungibwansi nga bayoola kasasiro, okugogola emyala n'okusaawa ensiko ku makubo.
Abatuuze era baalaajanidde KCCA ebayambe ereetenga emmotoka zaabwe ebakungaanyengamu kasasiro nga bwe bakola mu bitundu ebirala ekitundu kyabwe kisobole okulongooka.