Obutakkaanya wakati w'ab'ekika kya Pasita Augustine Yiga Abizzaayo, 43 n'abakulembeze b'ekkanisa ye e Kawaala bwatandise ng'ab'ekika bawakanya okumuziika ku kkanisa ye nga bwe yalaama. Abeekika baabadde bawakanya okuziika Yiga e Kawaala nga bagamba nti, baludde nga bamusaba alekere awo okubeekutulako nga bwe yakola ng'alokoka n'okukola ekiggya ekikye ku kkanisa n'aziikawo maama we, Elizabeth Kwagala kyokka nga si ye yekka gw'azaala waliwo n'abalala abaasigala mu Bukatoliki. Ekiggya abamu ku b'engabi we baagala Yiga aziikibwe Yiga yalaama kumuziika ku kkanisa ye eya Christian Revival Church e Kawaala nga kye kyavuddeko olutalo olw'amaanyi n'okusiba ezimu ku nteekateeka z'okumuziika ng'abakulu mu kika kye baagala azzibwe ku butaka. Yiga yakulira Bukomansimbi mu Buddu awaaziikibwa kitaawe, Yozefu Matovu era baganda be bagamba nti okumuziika e Kawaala abeera abeeyawuliddeko ddala. Ku ssaawa 5:00 eggulo, olukiiko olw'amangu lwatuuziddwa ku kkanisa ye okugonjoola ekizibu ekyabadde kiyinza okulemesa ekiraamo kya Yiga omuli n'omulambo gwe okugutwala ku kkanisa ye gumalewo ennaku ttaano nga tannaziikibwa. Jjajja w'omugenzi Yiga Okulaama amale ennaku ttaano, yali ayagala kisobozese abagoberezi be abangi mu ggwanga okuva gye bali yonna bamukubeko eriiso evvannyuma wabula omulambo gukyaterekeddwa kkampuni eyakoze ku by'okuziika olw'enkaayana z'okumuziika. "Omulambo tusuubira okuguggyayo enkya (leero ku Lwokutaano) oba ku Lwomukaaga kubanga olukiiko luwedde tukkaanyizza aziikibwe nga bwe yalaama wadde nga lubaddemu okusika omuguwa okw'amaanyi." Omu ku baabadde mu lukiiko bwe yategeezezza Bukedde. Muganda wa Yiga ayitibwa Charles Kayenga Kiribakka eyavudde e Mawogola okujja e Kampala alabe eby'okuziika muto we yategeezezza nti, 'Yiga yalaama kumuziika ku kkanisa n'atugamba nti yenna alyetantala okumuzza e Buddu talisomoka Lwera. Ekyalo Mpaama ab'engabi gye baagala Yiga aziikibwe Yagaana okuzimba ennyumba eyiye ku bubwe ng'agamba nti ekkanisa nnyumba ya Mukama era ye ayagala asulenga mu nnyumba ya Mukama." Ono eyabadde ayambadde ssappule olw'okuba nga Yiga ne baganda be baazaalibwa Bakatoliki. Kitaabwe Yozefu Matovu yafa mu 1995 ate maama waabwe Elizabeth Kwagala n'afa mu 2018. Ensonda ku baabadde mu lukiiko zigamba nti, ab'ekika abaabadde bawakanya okumuziika ku kkanisa baludde nga balina obutakkaanya ne Yiga eyalokoka ate nga bo Bakatoliki ekibadde kibaleetera obutakwatagana mu bintu bingi olw'endowooza z'eddiini nga ne mu nkiiko z'ekika ezimu Yiga abadde tabeerayo ng'agamba nti mulokole. Omugenzi Paasita Yiga Mu lukiiko, mwabaddemu abaana ba Yiga abakulu abaakulembeddwa Andrew Jengo, mikwano gye, abakadde b'ekkanisa n'abeekika babiri okuli eyabadde awakanya eky'okumuziika ku kkanisa eyakiikiridde banne ne Kayenga eyabadde awagira ebiri mu kiraamo. Yiga yafa puleesa, ekibumba, sukaali n'endwadde endala mu ddwaaliro e Nsambya. Aziikibwa ku Ssande e Kawaala. ABAKADDE b'ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw'amangu olw'enkaayana ezaabaluseewo ng'ab'ekika (Ekyengabi) bawakanya okumuziika ku kkanisa ye. Obutakkaanya wakati w'ab'ekika kya Pasita Augustine Yiga Abizzaayo, 43 n'abakulembeze b'ekkanisa ye e Kawaala bwatandise ng'ab'ekika bawakanya okumuziika ku kkanisa ye nga bwe yalaama. Abeekika baabadde bawakanya okuziika Yiga e Kawaala nga bagamba nti, baludde nga bamusaba alekere awo okubeekutulako nga bwe yakola ng'alokoka n'okukola ekiggya ekikye ku kkanisa n'aziikawo maama we, Elizabeth Kwagala kyokka nga si ye yekka gw'azaala waliwo n'abalala abaasigala mu Bukatoliki. Yiga yalaama kumuziika ku kkanisa ye eya Christian Revival Church e Kawaala nga kye kyavuddeko olutalo olw'amaanyi n'okusiba ezimu ku nteekateeka z'okumuziika ng'abakulu mu kika kye baagala azzibwe ku butaka. Yiga yakulira Bukomansimbi mu Buddu awaaziikibwa kitaawe, Yozefu Matovu era baganda be bagamba nti okumuziika e Kawaala abeera abeeyawuliddeko ddala. Ku ssaawa 5:00 eggulo, olukiiko olw'amangu lwatuuziddwa ku kkanisa ye okugonjoola ekizibu ekyabadde kiyinza okulemesa ekiraamo kya Yiga omuli n'omulambo gwe okugutwala ku kkanisa ye gumalewo ennaku ttaano nga tannaziikibwa. Okulaama amale ennaku ttaano, yali ayagala kisobozese abagoberezi be abangi mu ggwanga okuva gye bali yonna bamukubeko eriiso evvannyuma wabula omulambo gukyaterekeddwa kkampuni eyakoze ku by'okuziika olw'enkaayana z'okumuziika. "Omulambo tusuubira okuguggyayo enkya (leero ku Lwokutaano) oba ku Lwomukaaga kubanga olukiiko luwedde tukkaanyizza aziikibwe nga bwe yalaama wadde nga lubaddemu okusika omuguwa okw'amaanyi." Omu ku baabadde mu lukiiko bwe yategeezezza Bukedde. Muganda wa Yiga ayitibwa Charles Kayenga Kiribakka eyavudde e Mawogola okujja e Kampala alabe eby'okuziika muto we yategeezezza nti, 'Yiga yalaama kumuziika ku kkanisa n'atugamba nti yenna alyetantala okumuzza e Buddu talisomoka Lwera. Yagaana okuzimba ennyumba eyiye ku bubwe ng'agamba nti ekkanisa nnyumba ya Mukama era ye ayagala asulenga mu nnyumba ya Mukama." Ono eyabadde ayambadde ssappule olw'okuba nga Yiga ne baganda be baazaalibwa Bakatoliki. Kitaabwe Yozefu Matovu yafa mu 1995 ate maama waabwe Elizabeth Kwagala n'afa mu 2018. Ensonda ku baabadde mu lukiiko zigamba nti, ab'ekika abaabadde bawakanya okumuziika ku kkanisa baludde nga balina obutakkaanya ne Yiga eyalokoka ate nga bo Bakatoliki ekibadde kibaleetera obutakwatagana mu bintu bingi olw'endowooza z'eddiini nga ne mu nkiiko z'ekika ezimu Yiga abadde tabeerayo ng'agamba nti mulokole. Mu lukiiko, mwabaddemu abaana ba Yiga abakulu abaakulembeddwa Andrew Jengo, mikwano gye, abakadde b'ekkanisa n'abeekika babiri okuli eyabadde awakanya eky'okumuziika ku kkanisa eyeyakiikiridde banne ne Kayenga eyabadde awagira ebiri mu kiraamo. Yiga yafa puleesa, ekibumba, sukaali n'endwadde endala mu ddwaaliro e Nsambya. ABAKADDE b'ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw'amangu olw'enkaayana ezaabaluseewo ng'ab'ekika (Ekyengabi) bawakanya okumuziika ku kkanisa ye. Obutakkaanya wakati w'ab'ekika kya Pasita Augustine Yiga Abizzaayo, 43 n'abakulembeze b'ekkanisa ye e Kawaala bwatandise ng'ab'ekika bawakanya okumuziika ku kkanisa ye nga bwe yalaama. Abeekika baabadde bawakanya okuziika Yiga e Kawaala nga bagamba nti, baludde nga bamusaba alekere awo okubeekutulako nga bwe yakola ng'alokoka n'okukola ekiggya ekikye ku kkanisa n'aziikawo maama we, Elizabeth Kwagala kyokka nga si ye yekka gw'azaala waliwo n'abalala abaasigala mu Bukatoliki. Yiga yalaama kumuziika ku kkanisa ye eya Christian Revival Church e Kawaala nga kye kyavuddeko olutalo olw'amaanyi n'okusiba ezimu ku nteekateeka z'okumuziika ng'abakulu mu kika kye baagala azzibwe ku butaka. Yiga yakulira Bukomansimbi mu Buddu awaaziikibwa kitaawe, Yozefu Matovu era baganda be bagamba nti okumuziika e Kawaala abeera abeeyawuliddeko ddala. Ku ssaawa 5:00 eggulo, olukiiko olw'amangu lwatuuziddwa ku kkanisa ye okugonjoola ekizibu ekyabadde kiyinza okulemesa ekiraamo kya Yiga omuli n'omulambo gwe okugutwala ku kkanisa ye gumalewo ennaku ttaano nga tannaziikibwa. Okulaama amale ennaku ttaano, yali ayagala kisobozese abagoberezi be abangi mu ggwanga okuva gye bali yonna bamukubeko eriiso evvannyuma wabula omulambo gukyaterekeddwa kkampuni eyakoze ku by'okuziika olw'enkaayana z'okumuziika. "Omulambo tusuubira okuguggyayo enkya (leero ku Lwokutaano) oba ku Lwomukaaga kubanga olukiiko luwedde tukkaanyizza aziikibwe nga bwe yalaama wadde nga lubaddemu okusika omuguwa okw'amaanyi." Omu ku baabadde mu lukiiko bwe yategeezezza Bukedde. Muganda wa Yiga ayitibwa Charles Kayenga Kiribakka eyavudde e Mawogola okujja e Kampala alabe eby'okuziika muto we yategeezezza nti, 'Yiga yalaama kumuziika ku kkanisa n'atugamba nti yenna alyetantala okumuzza e Buddu talisomoka Lwera. Yagaana okuzimba ennyumba eyiye ku bubwe ng'agamba nti ekkanisa nnyumba ya Mukama era ye ayagala asulenga mu nnyumba ya Mukama." Ono eyabadde ayambadde ssappule olw'okuba nga Yiga ne baganda be baazaalibwa Bakatoliki. Kitaabwe Yozefu Matovu yafa mu 1995 ate maama waabwe Elizabeth Kwagala n'afa mu 2018. Ensonda ku baabadde mu lukiiko zigamba nti, ab'ekika abaabadde bawakanya okumuziika ku kkanisa baludde nga balina obutakkaanya ne Yiga eyalokoka ate nga bo Bakatoliki ekibadde kibaleetera obutakwatagana mu bintu bingi olw'endowooza z'eddiini nga ne mu nkiiko z'ekika ezimu Yiga abadde tabeerayo ng'agamba nti mulokole. Mu lukiiko, mwabaddemu abaana ba Yiga abakulu abaakulembeddwa Andrew Jengo, mikwano gye, abakadde b'ekkanisa n'abeekika babiri okuli eyabadde awakanya eky'okumuziika ku kkanisa eyeyakiikiridde banne ne Kayenga eyabadde awagira ebiri mu kiraamo. Yiga yafa puleesa, ekibumba, sukaali n'endwadde endala mu ddwaaliro e Nsambya. Aziikibwa ku Ssande e Kawaala.
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
Scientists are putting an herbal remedy from Madagascar, purported to cure COVID-19, to the test. Researchers at Germany's Max Planck ...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...