Ng'ali wamu ne Gen Geeon ssaako West Don nabbo bakubye oluyimba lwe batyumye "Sevo Sevo" oluwaana pulezidenti Museveni n'ebirungi byakoledde Uganda ne basaba abantu okumusiima.
Ngam omutuuze w'e Bunga era nga musuubuzi w'emyenge egy'ebbeeyi (wines) agamba kino bakokoze okusabulula obulimba n'obukyali obubadde busigibwa mu bavubuka ennaku zino.
"Okuyimba ng'ogyeko okuba ekitone, kubbo omuntu mwasobola okuyisa obubaka ne butuuka amangu mu bantu era y'ensonga lwaki nange nkwagala nnyo naye ekinnuma kwe kulaba abantu abamu abalifudde ekubbo okusiga obukyali n'enjawukana mu bantu.
Kino kye kyampaliriza nze ne banange okuvaayo tuyite mu myuziki okusiima n'okulaga ebirungu pulezidenti Museveni byatukoledde wamu ne bannakibiina kya NRM."
Ngam eyeeyita omulwanirizi w'eddembe ng'ayita mu kuyimba azze akuba ennyimba ezikubiriza abantu okukuuma emirembe n'obumu omuli n'olwa ‘Stand up African'
Webafuulumiriza oluyimba luno nga Catherine Kusasira kyajje ategezze nga bwe balina abayimbi abawerako abayimbye ennyimba ezisuusuuta NRM era obwedda abawulirizza oluyimba lw'abano nga bagamba nti ono yandiba nga y'omu kw'abo b'ayogerako.