Wednesday, December 30, 2020

Olukiiko lwa kabineti lwakusala ku myaka abakadde kwebafunira ensako eya buli mwezi

Olukiiko lwa kabineti lwakusala ku myaka abakadde kwebafunira ensako eya buli mwezi

Hajat Sarah Kanyini agamba nti ensonga zino yamaze okutuusa mu lukiiko lwa Baminisita (Cabinet) era lwe lulindiriddwa okusalawo.

Agamba nti gavumenti ekizudde ng'emyaka 80 omukadde kw'ateekeddwa okufunira ensako eya 25,000/- buli mwezi giri waggulu nnyo era bangi bakandaaliridde okuzifuna abamu ne batuuka okufa nga tebazikombyeko.

Minisita Sarah Kanyike bino abyogeredde Kayunga bw'abadde agabira abakadde 2,818 ssente 100.000/- buli omu ez'ensako gavumenti zeebawa buli mwezi nga zino za myezi ena okuli July, August, September ne October.

Agamba nti gavumenti era yakulowooza ku kwongeza ku mutemwa gwensimbi zino okuva ku 25,000/- ze bafuna  kati zeeyongereko.

Minisita Kanyike yagambye nti abakadde era balina n'ekizibu eky'emwaka egiri ku ndagamuntu nga abamu bakaddiye naye endagamuntu ziraga emyaka mitono ate abamu tebazirina era ku kino bamaze okuwandiikira abakulira abakozi ku disitulikiti zonna bakwatagane n'ekitongole ki NIRA batereeze ensobi zino abakadde bafune ssente.

Akulira enteekateeka eno e Kayunga Collins Kafeero Kiggundu agamba nti okuva mu mwaka gwa 2016 lwe baatandika okugabira abakadde, ssente 1,799,000,000/- ze zaakagabibwa era abakadde 2,818 be baganyuddwa.

Kafeero agambye nti ssente zino zikyusizza obulamu bw'abakadde era abaali baweddemu essuubi baatandika okwekkiririzaamu ate abamu bazikozesa okwejjanjaba, okwetuusaako ebyetaago n'abamu batandiseewo pulojekiti ezireeta ssente.

Abakadde basiimye gavumenti olwensako eno ebaweebwa era bawadde obujulizi ku ngeri ssente zino gye zibayambye.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts