Sunday, November 29, 2020

Balaajanidde poliisi ku loole eyagudde mu kkubo

Balaajanidde poliisi ku loole eyagudde mu kkubo

Abatuuze b'e Luseera - Kateera e Kiboga balaajana olw'ekimotoka ekizibye ekkubo lyabwe nga kati kimaze wiiki nnamba bukyanga ky'ekiika mu kkubo. 
Owa bbooda nga yeewaganya wansi wa loole.
Bano baalabiddwaako ng'abamu bayita wansi w'ekimmotoka nga n'aba bboodabbooda batetenkanya pikipiki zaabwe ne bayita wansi w'ekimmotoka mu bunkenke obw'ekitalo. 
Bwe twogeddeko n'abamu ku bakozesa ekkubo lino naddala aba bboodabbooda  batugambye nti bakooye okuyisa pikipiki zaabwe wansi nga waliwo n'ababasaba ssente 1,000/- okuyitawo. 
Mmotoka kati tezirina we ziyita okuggyako okwetooloola ne bagwa e Busunju kyokka nga bakozesa amafuta mangi. Basabye aba UMEME okuggyayo mmotoka eno mu bwangu kubanga yabadde etwala miti gyabwe. (Ebif. Bya Abu Batuusa)

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts