Sunday, November 29, 2020

Nnamukadde yeekubidde enduulu ku baana abamugoba ku ttaka

Nnamukadde yeekubidde enduulu ku baana abamugoba ku ttaka

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga okumutaasa ku baana abamugoba ku ttaka lya bbaawe.  

Nnamwandu Teddy Nakirijja.

Ku Ssande, State House yasindise Nashan Bwogi okutabaganya abantu bano ng'era olukiiko lwabadde ku kyalo Mpooma -Mukono Town Council awali ettaka lino.

Olukiiko we lwaggweredde nga nnamukadde n'abaana batuuse kunzikkiriziganya nga bagenda kuteekawo embeera y'okugabana ettaka lino okwewala okuyiwa omusaayi. Nnamukadde abadde n'abaana be okuli: Rebecca Nassali 60, John Misango Lukwago 52 ne Patrick Katumba Lugajju 44.

Abamu ku bantu abaabadde mu lukiiko.

 Kigambibwa nti ettaka lino omugenzi Disan Mukasa yaligula mu 1959 ku mugenzi George Wilson Ssali. Ku ttaka lino Ssali kwe yali aziika abantu be era ne bateesa ne Mukasa  n'amukutulirako ekitundu waaziika.

Kyokka abaana ba Ssali okuli: James Tamale, John Bunjako, Kafeero, Ssekitoleko, Nantongo n'abalala baalaba Mukasa afudde kwe kutandika okutulugunya ffamire  ya Mukasa nga bagamba nti ettaka lyabwe era we baziika. Baddukira mu kkooti bagobemu abenganda za Mukasa.

Nashan Bwogi yalagidde abaana ba Ssali babaweeko ekitundu ku ttaka lino kyokka ku ludda we baziika. Olukiiko luno lwetabiddwaamu looya Benard Kyobe owa sayidi ya Mukasa,abakulembeze b'ekyalo n'abatuuze.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts