BANNAUGANDA balabuddwa okukomya omuze gw'okukaabira Gavumenti ku busonga obutaliimu wabula beemanyiize okutereka ssente entono ze bafuna.
Amagezi gano gaabawereddwa, Rogers Kakeeto, omukugu mu byenfuna okuva mu UGAFODE Micro Finance bwe yabadde e Wandegeya ku mukolo ogwategekeddwa UGAFODE okusiima abamu ku bakasitoma baabwe abasobodde okutereka mu kiseera kya corona.
Kakeeto yategeezezza nti ekisibye abantu emabega kwe kulowoolereza mu kufuna eby'obwereere okuva mu Gavumenti ne balemwa n'okukola ebintu eby'enkulakulana. Kakeeto aliko ebirabo eby'enjawulo omuli, ttivvi, obugaali, sola bye baawadde abamu ku bantu abaasobodde okutereka mu kiseera kino.