ROBERT Kyagulanyi (Bobi Wine) olwavudde e Luweero gye yakubye olukuhhaana olumu kw'ezo ezikyasinze obunene n'agumya abawagizi be nti ensolo ku kizigo kweri, obuwanguzi bujja. Yalombozze obulippo n'okunyigirizibwa kw'ayiseemu ng'ayigga akalulu wiiki ebbiri ezisoose kyokka n'awaga nti bimwongedde buvumu.
Wano we yakiggyiddeyo nti abamu ku baserikale abeetabye mu kumunyigiriza bamaze okubatwala mu kkooti okuli n'abaduumizi ba poliisi n'amagye mu ggwanga. Ensonga ez'enjawulo eziruma eggwanga ng'ekibbattaka, obwavu, Bobi ng'ali mu maka ge e Magere yabyogeddeko nga bw'ajuliza ku byawandiikibwa mu bitabo ebitukuvu nti ye alinga David, Katonda gwe yawa amaanyi n'akuba Goriyaasi ejjinja n'amuwangula.
We yayogeredde yabadde yaakava e Nakaseke gye yatuukidde wakati mu kusoomoozebwa kubanga e Nakasongola gye yasoose waabaddeyo okukuba abawagizi be emiggo. Bwe yatuuse e Luweero n'ayita bazadde b'omwana, Arnold Walusimbi 14, gwe baakubye amasasi ne gamutta mu kwekalakaasa.
Nnyina w'omwana Harriet Nakamya ne kitaawe, Walusimbi baategeezezza ng'omwana waabwe bwe yali ava okugula chipusi ne bamukuba amasasi, n'afa, yakkirizza nti omwana we k'afuuke ssaddaaka. Bobi Wine mu kwogera yajjukizza ne Hakim Ssekamwa eyatomerwa emmotoka ya poliisi e Luweero, kyokka yagumizza nti olwamuwandiika okuvuganya ku bwapulezidenti n'aggalawo ekitabo ky'okukaaba kati yaggulawo eky'okukola.
Olwatuuse e Nakaseke, omubaka Ssemakula Luttamaguzi n'amuloopera nti ettaka ly'abantu mu bitundu bya Luweero balibbye okulimalawo. Baatandise okwasanguza amannya g'abaserikale be bagamba nti be babakolako effujjo. Ono olwawummuzizza omuzindaalo, Mathias Mpuuga amyuka pulezidenti wa NUP atwala ebitundu bya Buganda n'agukwata. "Abantu b'olaba wano kwe kwewaayo kwa Luweero okwenunula".
Ng'asinziira e Magere yagambye nti ebimu ku bikaluubirizza kkampeyini ze, kati baamuteekako akamotoka akaliko ekkomera mwe baamukwatira e Luuka akamulondoola buli wamu. Kuno boongeddeko emmotoka z'ebitongole by'ebyokwerinda ezitaliiko nnamba ezirimu abantu abamulondoola.
Tebakomye awo, bataddewo abaserikale abeesabika ne beebikka amaaso abamulondoola buli w'alaga nga tamanyi kye bamwagaza. Yagambye nti abantu b'e Nakaseke be balwanyi abatuufu kyokka bangi ku baalwana bali mu mbeera mbi tebasasulwanga.
Wano abantu baayisizzaamu amaloboozi nti n'ennyumba mwe basula zitonnya era buli kkampeyini lwe zituuka ba basuubiza. "Eyo yonna gye mpise ndabye ebijjukizo by'abantu abattibwa, mwe wano mutambulira ku malaalo era nkimanyi ebiwundu bingi ku mwoyo tebinnaba kuwona," bwe yaggumizza. Yayongeddeko nti bangi abalima balabye ebbeeyi y'ebirime egwa buli kiseera nga n'ettaka kwe balimira balitutte.