Monday, November 2, 2020

Minisita Kiwanda akoze omukolo ogwaniriza Mayinja mu NRM

Minisita Kiwanda akoze omukolo ogwaniriza Mayinja mu NRM

Minisita Godfrey Kiwanda Ssuubi ayanirizza omuyimbi Ronald Mayinja mu kibiina kya NRM mu butongole. Amukuutidde obutakyuka anywerera ku ndowooza n'ennono y'ekibiina.

Ono asekeredde abavuma Mayinja n'okumulangira okubalyamu olukwe nti kuva dda musajja wa NRM nga kino kye yakoze akomyewo waka oluvannyuma lw'okutebuka abaali bamubuzaabuza.

Mayinja4a

Awadde eky'okulabirako eky'ennyimba za Mayinja okuli: Embeera ya ssente' ne ‘Abalina ssente' z'agamba nti ziggyayo ezimu ku ndowooza z'ekibiina kya NRM omuli obutasosola bantu mu myaka n'eby'enfuna era nti kano kabonero akalaga nti Mayinja muntu waabwe okuva edda.

Okwogera bino abadde mu maka ga Mayinja e Munyonyo gye baakoledde omukolo gw'okumuyingiza mu NRM mu butongole n'okumwambulula ebisiraani by'ebibiina ebirala gy'abadde atera okuyitira.

Mayinja5aa

Kiwanda asoose okusala ddansi ne Mayinja wamu ne Catherine Kusasira nga bwe bayimba oluyimba lwa Mayinja olupya lwe yakubye ng'awaana n'okusuusuuta Pulezidenti Museveni.

Agambye nti  omukolo guno agukoze ku lwa Pulezidenti Museveni era ssentebe wa NRM mu ggwanga era musanyufu nnyo Mayinja okubeegattako. Kiwanda asabye Mayinja okubeegattako mu nteekateeka ze balina okutalaaga eggwanga nga basomesa abantu okunyiikiza enjiri ya NRM n'okubayigiriza okukola mu kaweefube w'okubayamba okusitula ebyenfuna byabwe ng'abantu n'eby'eggwanga.

Ye Mayinja abadde abugaanye essanyu agambye ekya minisita Kiwanda okumukyalirako mu maka n'amwaniriza mu kibiina kimwongedde amaanyi n'okumulaga nti gye yagenze bamwagala.

Agasseeko nti okwegatta ku NRM teyakikoze lwakuba NRM oba Pulezidenti Museveni amwetaaga nnyo wabula tayagala kubeera omu ku bantu abayinza okutuusa Uganda mu mbeera eyakazigizigi.

"Natudde wansi ne ndowooza nnyo ku Uganda ey'omu maaso ne nkizuula nti ddala nga Bannayuganda twetaaga nnyo Pulezidenti Museveni okusinga ye bwatwetaaga era kwe kusalawo kino kye nakoze kuba saagala Uganda efaanane ensi endala nga Libya ne Somalia."  Mayinja bwe yagasseeko.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts