Omubaka Betty Nambooze Bakireke agumbye ku poliisi e Mukono ng'ayagala Afande Ismail Kifudde akolanga DPC wa Mukono ayimbule abantu be ab'ekibiina kya NUP abaakwatiddwa ku Lwokubiri n'emmotoka y'ebidongo ey'ekika Canter nnamba UAR 206M. Bano baabadde bayisa ebivvulu nga basanyukirako Robert Kyagulanyi Ssentamu okwewandiisa okukwatira ekibiina kya NUP bendera y'obwapulezidenti.
Nambooze yabadde ne kansala w'e Goma ku disitulikiti, Lukeman Ssegayi. Bwe baatuuseeyo Kifudde yabategeezezza nti tayinza kuyimbula abaakwatiddwa kubanga ensonga zaabwe zivunaanyizibwako DPC Abubaker Musiho ne OCID Fred Oyaka. Kino kyamutabudde n'amutabukira kyokka teyafunye kuyambibwa.
Nambooze yagambye nti alina okutya olw'abasibe abajjudde mu kaduukulu ka poliisi ng'ate gye buvuddeko baggyamu omusibe eyalina ekirwadde kya COVID 19 ng'ate ne DPC Musiho ali ku ndiri olw'ekirwadde kya COVID. Ono akolimidde Kifudde n'amulabula okukomya okukozesebwa bannabyabufuzi. Omuwendo gw'abantu abaakwatiddwa tegumanyiddwa nga ne poliisi egaanyi okubaako kyeyogera ku nsonga eno.
Bya Eric Yiga.