Sunday, November 1, 2020

Omuyimbi Mayinja yeegasse ku NRM

Omuyimbi Mayinja yeegasse ku NRM

OLUVANNYUMA lw'okukuba oluyimba olusuuta n'okusabira Pulezidenti Museveni obululu ekyatabudde abantu ne bamwambalira n'okumulangira ebisongovu, omuyimbi Ronald Mayinja alangiridde mu butongole nga bwe yegasse ku kibiina kya NRM.

Alabudde abamuvuma okukikomya nti eno si ye nkola entuufu ku muntu omukulu eyesaliddewo era buli muntu waddembe okukola ekyo ekimuwa emirembe. "Nabadde nsabye abakulu mu NRM banyingize ekibiina naye okusinziira ku bivumo n'ebigambo abantu abali ku ludda oluvuganya gavumenti bye banjogeredde, sikyasobola kulinda bakulu lwe banampita.

''Okuva leero ndi wa NRM era nsaba Pulezidenti Museveni wadde ssente ze bampadde zaabadde za kukola kalango ka luyimba, kati njagala kutambula naye munoonyeze obululu." Bwatyo Mayinja obwedda eyekokkola abavubuka abaamuvumye bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti abavubuka ba People Power baludde nga bamuvuma era yasooka kulowooza nti bamukuba kumulemesa kifo ky'omubaka wa Gomba East gye yali yeegwanyiza kyokka ne bwe yalangirira nti tagenda kwesimbawo baasigaala bamuvuma ekimunyizizza n'asalawo abaviire.

Mayinja eyalabise ng'alina obulumi ku mutima akangudde  ku ddoboozi n'agamba nti bwe kiba nga kkaaddi ya NUP gye bampa y'envumisa bagikime sikyali waabwe.

Kyokka agamba nti wadde yeegasse ku NRM tagenda kuva ku mulamwa ogw'okulwanirira abantu abanyigirizibwa n'ebirala ebibaluma era agenda kukozesa omukisa okuba nti ali kumpi n'omukulembeze w'eggwanga okumulaga ebyo abantu bye batayagala ne bye baagala okubakolera.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts