Friday, December 18, 2020

Kazimba alabudde ku birabo bya bannabyabufuzi

Kazimba alabudde ku birabo bya bannabyabufuzi

SSAABALABIRIZI w'ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu alabudde Bannayuganda obutatunda nsi yaabwe olw'obusente obubaweebwa abeesimbyewo ky'agambye nti kireetedde bangi obutafuna mpeereza za Gavumenti.

Kazimba yagambye nti abantu bangi balimbiddwa n'obusentesente okubagulirira okubalonda ekibaleetedde okulonda bannakigwanyizi abeenoonyeza ebyenfuna wabula sikuyamba bantu. Kazimba yasinzidde mu lukung'aana lwa bannamawulire e Namirembe ku Lwokuna bwe yabadde awa obubaka bwe obwa Ssekukkulu ku kitebe ky'Obwassabalabirizi e Namirembe.

Yasabye Bannayuganda obutagulumiza bannabyabufuzi omuli okubasinza n'okubasuusuuta ennyo ekisukkiridde wabula bakimanye nti Yesu ye Mulokozi ate nga n'obukulembeze obulungi buva eri Katonda. Yagambye nti wadde kampeyini n'okulonda weebiri naye abantu basaanye babeere beegendereza nnyo.

"Musaanye mumanye nti tewali munnabyabufuzi yali abafiiriridde nga mu kino mulina okuba abeegendereza kuba emagombe teri kulya binyeebwa. Ebyobufuzi biggwa naye ate mmwe musigalawo n'olwensonga eyo temuteekawo mbeera ebaleetera kufiirwa bulamu bwammwe. Kazimba bwe yategeezezza.

Yasabye bannabyabufuzi bonna bakozese enkola y'okunoonya obululu nga bakozesa emitimbagano okusinga okukung'aanya abantu ekintu ekireetera abamu okufuna ekirwadde kya corona. Yasabye Uganda wasigalewo emirembe ng'okulonda kuwedde era n'asoomooza abo bonna abasubira okukola obutabanguko nga bawakanya ebivudde mu kulonda bakozese amakubo amatuufu okusinga okudda ku nguudo okwekalakaasa kuba kiguliramu obulamu bw'abantu.

Kazimba era yasinzidde wano n'ategeeza ng'abawule 10 mu Kkanisa ya Uganda be baabakakasibwa okufuna obulwadde bwa corona wabula nga bano basobodde okujjanjabwa ne bawona. Yagambye nti okwamba masiki, okwewa amabanga n'okwewala enkung'aana bye bimu ku bijja okuyambako okulwanyisa ekirwaddde kino kuba buli lukya kyeyongera bweyongezi mu mawanga ag'enjawulo.

Yasembyeyo ng'alambulula nti ebikujjuko bya Ssekukkulu omuli okuyimba ennyimba z'Amazaalibwa ku mulundi guno tebiriiyo olwa Corona.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts