Wednesday, December 9, 2020

Temwetuuma bitiibwa mubikolerere

Temwetuuma bitiibwa mubikolerere

ABAKULEMBEZE ku mitendera gyonna mukolerere  ebitiibwa so si kubyetuuma. Canon Henry Ssegawa abadde akulira ettendekero ly'Abawule erya Uganda Martyrs Seminary bwe yasoomoozezza abakulembeze bw'abadde ku mukolo ogumusiibula ogutegekeddwa Abaawule abaasomerako e Namugongo nga bakulembeddwamu Rev.Godfrey Kyanda.

Canon Ssegawa mu kwogerako eri Abaawule ategeezezza nti,  okumujjukira teyetaaga kusimba Jinja e Namugongo wabula abayizi be yasomesa gwe mumuli gwe n'asoomooza abakulembeze okukolerera ebitiibwa byabwe okusinga okukola ebikolwa ebinyigiriza abantu olwo balyoke babatye.

Canon Ssegawa yalondeddwa okuba omuwandiisi w'obulabirizi bw'e Namirembe.Ye Rev. Kyanda akulembeddemu Abaawule basiimye Canon Ssegawa olw'okubatendeka obulungi mu buweereza.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts