Tuesday, December 29, 2020

Tetwagala basajja bavumbeera

Tetwagala basajja bavumbeera

Mu kifaananyi waggulu ye Sarah Natukunda

NEEYAGALIRA MUSAJJA MUWANVU

Nze Sarah Natukunda 28, mbeera Ndejje, nzaalibwa Mbarara. Nasomako era nazaalako.
Nnoonya omwami ng'ali wakati w'emyaka 29 - 45, eyazimba, akola, ate
nga mwetegefu okwekebeza omusaayi. Njagala omusajja nga muwanvu. Kuba
0757286614.

EBIJUUJULU EBIRALA EBINOONYA

Hawa 37 mbeera Bushenyi mu bakadde bange,nnazaalako era ndabika bulungi. Noonya omwami nga naye alabika bulungi ng'ali ku ddagala lya ARVS, akola, asobola okundabirira nga mwetegefu okunfunira omulimu n'okukola obufumbo.
Njagala okuva ku myaka 39 -50. Kuba 0707860844.

Nze Carol Liz 35, mbeera Mbale. Nnina abaana babiri ate nasoma. Neetaaga omwami ali wakati w'emyaka 40-65 ng'ali ku ddagala.

Alina okuba nga wa mpisa ate ng'atya Katonda. Alina okuba nga muzadde, mukozi, mukkakkamu ate ng'alina omukwano. Omwetegefu okugenda mu bazadde kuba 0707436855 oba 0777893615.

Nze Judith Nampijja 26, mbeera Nateete, nazaalako, ntunda dduka, neddira Nte.
Neetaaga omwami omwetegefu okukola obufumbo, akola, atya Katonda ate nga wa buvunaanyizibwa. Njagala ali wakati w'emyaka 28 - 40 nga mwetegefu okugenda ewaffe n'okwekebeza omusaayi. Kuba 0707242545.

Nze Sharifa nnina emyaka 21, n'omwana omu. Nnoonya omwami ali siriyaasi okugenda mu bazadde ne ku musaayi. Sifa ku myaka kasita abeera ng'akola era ng'asobola
okundabirira. Atali muyaaye era nga mwetegefu okunkolera bizinensi kubanga saagala kukeera kutuula waka, kuba 0771012479.

Nze Anna 34, noonya omwami ow'okubeera naye. Nnina ekizibu ky'amatu tegawulira bulungi naye njagala atya Katonda nga tapangisa. Njagala ali wakati w'emyaka 40 - 50. Mpeereza obubaka ku 0707457001, omuyaaye n'omubbi temukuba.

Nze Jesca 34, mbeera Luweero. Ndi munene, muddugavu. Noonya Omwami
alina eddiini, omukkakkamu ng'ali wakati w'emyaka 38 - 60. Kuba 0781559878.

Nze Tracy 22, Mbeera Mbarara. Njagala omusajja ali wakati w'emyaka 30 - 35 anaampasa mu butongole. Sirina mwana era njagala atazaalangako, akola ate nga yazimba. Njagala Munyankole oba Muganda naye nga tusooka mu musaayi olwo
tugende mu bazadde. Kuba 0784384130.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts