Bino yabyogeredde mu kusabira omwoyo gw'omugenzi Rev. Fr. Dimitrios Sserugunda ng'ono yabadde Kabona w'ekiggo ky'Abasodokisi eky'okuyingizibwa kwa nnyina Katonda e Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo e Nakaseke ku lwa Ssande December 27, 2020.
"Mwongere okwekuuma nga bwekisoboka naye era amagezi g'embawa,bwowuliramu ekikyuse ku bulamu bwo,tegerezaawo mangu abasobola okukusalira amagezi ofune obuyambi," Metropolitan Lwanga bwe yabuuliridde abantu.
Yayongedde n'asaba abantu okulaba nga bakuuma emibiri gyabwe nga miramu bulungi okusobola okulwanyisa endwadde kubanga kona bwasangamu obulwadde obulala, gwe bukutte abeera mu katyabaga bw'atyo n'awa eky'okulabirako kya Fr. Emmanuel Ssekyewa ate ne Fr. Sseruganda bonna abaafudde corona oluvannyuma lw'okubasanga n'endwadde endala.
Fr. Sserugunda 70, yazaalibwa May 24,1950 n'afa December 25, 2020 ng'abadde kabona w'ekifo kino eky'e Magoma okuva mu mwaka gwa 1990 era yaliko akulira olukiiko lwa Magoma Orthodox P/S okuva 1990 okutuusa 2018.
Yaliko ssentebe w'olukiiko olugatta enzikkiriza za Kristo (UJCC)mu ttunduttundu ly'e Luweero okuva 1996 ate wamu n'olukiiko olugatta enzikiriza zonna (IRCU).