Monday, March 29, 2021

Abakulembeze 30 e Kalungu bagemeddwa Corona

Abakulembeze 30 e Kalungu bagemeddwa Corona

MINISITULE y'ebyobulamu yawaddeyo ddoozi 2,410 ez'eddagala erigema ekirwadde
kya COVID 19 eri abantu b'omu disitulikiti y'e Kalungu kyokka abasawo baakujjumbidde kitono olw'okwekwasa ensonga ezitali zimu.

Bo abakulembeze 30 mu disitulikiti abaakuliddwa ssentebe w'akakiiko akalwanyisa Corona aka Disitrict COVID 19 Task Force era RDC Pastor Caleb Tukaikiriza
baagemeddwa ne bafuna ddoozi yaabwe esooka.

Abalala abaagemeddwa y'akulira ebyobulamu Dr. Daniel Ssentamu, DISO Keneth Katungi, amyuka RDC Abell Bakunda, omuduumizi wa poliisi ASP Charles Okello n'abakungu abalala.

Dr. Ssentamu yategeezezza nti baasooka abaswao 450 kyokka abangi ne beebuzaabuza. Kyokka bo abasomesa baakujjumbidde nnyo. Basuubira okugema abalala 700 olwo eddagala libaggweeko okutuusa gavumenti lw'eneebongera eddala.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts