Sunday, March 28, 2021

'Abakristu mukomye okubusaabusa buli kimu'

'Abakristu mukomye okubusaabusa buli kimu'

CANSALA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Rev. Dr. Pius Male Ssentumbwe asabye Abakristu okweggyamu empisa ey'okubusaabusa n'okwewala okutwalibwa eby'ensi.

Bino abyogeredde mu Lutikko e Lubaga bw'abadde akulembedde Mmisa y'okunyenya matabi mu kujjukira olunaku Yezu lwe yayingiriramu mu kibuga Yeruzalemu.

Fr. Male ategeezezza nti abantu abamu bajjudde okubusaabusa mu buli kimu nga ne bwe kyatuuse ku ddagala erigema Covid-19 waliwo abalina okubusaabusa oba ddala likola.

Yekokodde ebikolwa bye yayise eby'ensi ebifumbekedde mu bantu okuli obuli bw'enguzi, ettemu, omululu n'ebirala.

Abamu Ku Bakristu Abeetabye Mu Mmisa E Lubaga.

Nabano Nabo Baabaddeyo.

Yabasabye buli omu okulowooza ku byeggulu n'okukolerera amazima nga bwe yeefumiitiriza ku kubonaabona kwa Kristu kwe yayitamu okutununula.

Ono yayambiddwako Fr. Achilles Mayanja akulira enzirukanya y'emirimu ku Lutikko.

Kyokka okwawukanako n'okunyeenya matabi okuzze kubeerawo ku mulundi guno tewabadde kusimba nnyiriri era ba bafaaza beetoolodde Eklezia nga bawa matabi omukisa.

 

 

.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts