Bya Luke Kagiri
Omuntu omu afiiriddewo omulala n'addusibwa mu ddwaaliro bwakooneddwa loole ebadde edduka emisinde. Akabenje kano kabadde ku kyalo Bbuye mu Munisipaali y'e Mityana. Abatuuze balumiriza nti ddereeva wa loole bwakoonye abantu bano, n'asiba n'adda emabega omu n'amutta mu bugenderevu.
Abakooneddwa babadde ku pikipiki nnamba UDW 512 H nga badda mu kibuga ky'e Mityana. Kigambibwa loole ebakoonye y'akitongole ky'amasannyalaze.
Eyafudde ye Shafik Ssekitto omutuuze w'e Kinvunikidde mu Mityana nga yabadde musaabaze ate Daniel Bukenya yatwaliddwa mu ddwaaliro e Mityana ng'embeera mbi. Abatuuze baategeezezza nti ddereeva wa loole amanyikiddwa nga Musiraamu avuga bubi loole.