Thursday, March 18, 2021

'Abasomesa ba yunivasite muddeyo musomese nga bwe tubakolako'

'Abasomesa ba yunivasite muddeyo musomese nga bwe tubakolako'

Bya Wilson Ssemmanda                                                                                                                                                            Minisita w'Ebyenjigiriza eby'amatendekero aga waggulu, Dr. JC. Muyingo yagambye nti ensonga y'abasomesa okussa wansi ebikola yagimanyaako naye n'abasaba baddeyo basomese nga bwe bagumiikiriza.

‘' Ensonga y'emisaala gy'abasomesa abo Gavumenti yasuubiza okugikolako nga ne we twogerera ba Polofeesa bali ku bukadde 15 bye bitundu 100 ku 100. Ne bano abasomesa abeegugunga twabongeza okutuuka ku bitundu 75 ku 100,'' bwe yannyonnyodde.

Yayongeddeko nti minisitule yayogera n'enkiiko eziddukanya Yunivasite okukkakkanya abasomesa bagumiikirize nga bwe basomesa abayizi, era yafuna lipooti eraga nti abasomesa bangi baali bazzeemu okusomesa, kyokka n'asuubiza nti waakwongera okwebuuza okumanyira ddala ekigenda mu maaso. Nakkaatiriza nti Bannayuganda babeere bagumu nti ensonga eno yaakugonjoolwa.

BYAJJA BITYA

Pulezidenti Museveni mu 2015 yasuubiza okwongeza emisaala gy'abasomesa mu Yunivasite za Gavumenti ng'oyo ali ku ddaala lya Polofeesa afuna obukadde 15, abasomesa abaluddewo (senior lecturer) afune obukadde 12.2 n'abalala bongezebwe mu ngeri bw'etyo.

Gavumenti yasalawo kino okukikola mu mitendera era nga mu mbalirira eya 2020/2021 Gavumenti yata ssente obuwumbi 50 ku nsonga eyo kyokka kyakoma ku bapolofeesa kati abafuna obukadde 15. Bo ba ‘lecturer' tebabongezanga misaala nga y'ensonga gye bawa okwekalakaasa.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts