Thursday, March 25, 2021

Bannayuganda baneebuuzibwako ku mutindo gw'enguudo

Bannayuganda baneebuuzibwako ku mutindo gw'enguudo

ABEEKITONGOLE kya Gavumenti ekivujjirira omulimu gw'okulabirira n'okuddaabiriza enguudo, ekya Uganda Road Fund (URF) kitongozza okwebuuza ku Bannayuganda ku mutindo gw'enguudo mu ggwanga (Road User Satisfaction Survey).

Kaweefube ono yatongozeddwa akola nga dayirekita wa URF Dr. Eng. Andrew Naimanye bwe yasimbudde ttiimu y'abantu 16 mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo okumala emyezi ebiri.

Dr. Naimanye yasinzidde ku ofiisi zaabwe ku kizimbe kya Twed Towers mu Kampala n'agamba nti bali wamu n'ebitongole nga ekya Uganda National Road's Authority, KCCA, ne Gavumenti ez'ebitundu nga basuubira okwebuuza ku bantu 6,000.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts