Wednesday, March 31, 2021

Batongozza emmwaanyi mu West Buganda

Batongozza emmwaanyi mu West Buganda

Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza kaweefube w'okusimba emmwaanyi mu bulabirizi bwa West Buganda. Asabye ababuulizi b'enjiri okukkaatiriza ekigambo ky'okukola okusobola okweggya mu bwavu.

"Okusula ng'osaba tekirina kye kikwongerako.Tukutendereza ataliiko kukola taliiko
ky'agasa," Katikkiro Mayiga bwe yagambye.

Yabadde ku Kkanisa ya St. John Ssunga mu bulabirizi bwa West Buganda ku Lwokutaano
we yatongolezza kaweefube ono. Yatenderezza omulabirizi wa West Buganda Henry Katumba olw'okuwagira enteekateeka y'okusimba emmwaanyi ng'ali wamu n'aba Uganda Coffee Development Authority (UCDA) n'abalala.

Omulabirizi Katumba yagambye nti obulabirizi bwakusimba yiika ttaano ku ttaka lyabwe eriri e Kiwomya nga buli busaabadinkoni n'obusumba bwakusimba
yiika emu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts