EBIGEZO bya P7 e Wakiso bitandise kikeerezi oluvannyuma lw'emmotoka ezitambuza ebigezo okubulwa abaserikale abagiwerekerako.
Okusinziira ku mateeka g'ekitongole ky'ebigezo mu ggwanga ekya UNEB, buli mmotoka etambuza ebigezo erina okubaako omuserikale agitambulirako okukakasa nti tewali mivuyo gyetobekamu.
Ziweze ssaawa 3:00 ez'oku makya ng'amasomero agasinga mu Wakiso tegannatandika bigezo ekireese abayizi okukonkomala mu bibiina nga tebamanyi kiddako.
Okusoomooza kw'emmotoka obutaba na baserikale kwegasseeko ekire ky'enkuba eyayonoonye amakubo agatuuka ku masomero abaana we batuulira ebigezo era ng'ebitundu ebimu baalinze n'ekya.
Jamil Kiwalabye akulira essomero lya Namusera UMEA P/S yategeezezza nti ebigezo baabitandise ku ssaawa 4:00 ez'oku makya. Yagambye nti kino kyakosezza nnyo abayizi kubanga obudde bw'okweteekateeka okukola ekiddako bwakyuseemu.
Source