ABANTU mu byalo ebyenjawulo mu disitulikiti y'e Rakai bakaaba lwa mazzi amacaafu ge bakozesa mu kunywa era balaajanidde aboobuyinza okubayamba okufuna amazzi amayonjo.
Abatuuze abakoseddwa bali mu ggombolola okuli Ddwaaniro ne Kagamba mu ssaza lye Buyamba. Bangi ku batuuze naddala ku byalo Luwaama, Kaleere, Kagamba, Ddwaaniro, Buyamba n'ebirala bagamba amazzi ge bakozesa macaafu era bamalidde ensimbi nnyingi mu kwejjanjaba endwadde eziva ku mazzi amacaafu.
Abatuuze baategeezezza nti abakulembeze baabwe be bazze balonda babadde tebabafaako ebbanga lyonna naddala ababaka ba Palamenti n'abakulembeze ku disitulikiti y'e Rakai.
Baatutegeezezza nti engeri gye bali mu kitundu eky'ensozi, ekiseera ky'ekyeya bwe kituuka, amazzi gabulira ddala wano we baagalira Gavumenti eveeyo ebafunire amazzi g'emidumu.
Basabye omubaka waabwe omupya omulonde ow'essaza ly'e Buyamba, Gyaviira Ssemwanga Kisoboka ensonga eno y'eba emu kw'ezo z'aba asooka okulowoozaako okulaba ng'abantu bataasibwa.