Thursday, April 29, 2021

Agambibwa okusibira bbebi mu kkeesi n'amutta asindikiddwa Kigo

Agambibwa okusibira bbebi mu kkeesi n'amutta asindikiddwa Kigo

Bya Margaret Zalwango

OMUWALA agambibwa okusibira bbebi mu kkeesi n'amutta avunaaniddwa n'asindikibwa mu  kkomera e Kigo. Ramula Kabasinguzi 18, nga muyizi era omutuuze mu Kirundu zooni e Makaindye mu Kampala asimbiddwa mu kkooti y'eddaala erisooka e Makindye mu maaso g'omulamuzi Robert Okipi n'avunaanibwa omusango gw'obutemu .

Bazadde b'omwana n'abooluganda nga bali mu kkooti.

Tamukkirizza kwanukula kubanga kkooti ye terina lukusa kuwulira misango gya nnaggomola nga guno. Omulamuzi era ategeezezza Kabasinguzi nti agenda kubeera mu kkomera okumala ennaku 180 ng'okunooyereza bwe kugenda mu maaso. Bwe kunaaba kuwedde asindikibwe mu kkooti enkulu omusango gwe gutandike okuwulirwa.

Omuwala ono kigambibwa nti April 22, 2021, e Makindye Luwafu mu Kirundu zooni n'ekigenderewa ekikambwe yatta omwana Rahma Nabukeera ow'emyezi 10 bwe yamusibira mu kkeesi nafiiramu ekiziyiro.

Kigambibwa nti omuwala ono oluvanyuma yategeeza maama w'omwana Lydia Kasoga nga bwe babadde beebase ne yeebakira omwana n'afa.

Nabukeera yali muwala wa Akram Lubyayi ne Lydia Kasoga . Ono bamutegeezezza nti ddembe lye okusaba okweyimrirwa kyokka nga kino akikola mu kkooti enkulu kubanga y'erina obuyinza okuwulira omusango guno.

Asindikiddwa mu kkomera e Kigo okutuusa nga May 21, 2021 lwanazzibwa mu kkooti.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts