Thursday, April 29, 2021

'Joel Okuyo weebale kumponya bakwabuzi'

'Joel Okuyo weebale kumponya bakwabuzi'

Bya Martin Ndijjo

Cindy awezezza emyaka ettano mu laavu n'omulenzi we omupya n'asuubiza abawagizi be nti essaawa yonna abanjulira enteekateeka z'embaga ye.

Cindy ne bba nga beeraga amapenzi.

Ono asinzidde ku mukolo ogutegekeddwa e Naggulu ku Victoria mall okwongera okutumbula ebya firimu mu ggwanga ne yeebaza bba Joel Okuyo Atiku naye abaddewo okumwagala n'amulaga laavu obutamujjuza.

"Leero  tuwezezza emyaka etano nga twagalaana naye amazima oyinza okulowooza tuli mu mwaka gumu kuba Joel ampadde essanyu lye sirabangako era buli kisseera laavu yaffe ebeera mpya.

Cindy bwe yawaanye bba n'ayoza ku munnye.

Mwebaza nnyo kuba yamponya abakwabuzi kati mwe abambuuza eby'embaga ekiseera kyonna tubanjulira ekiddako"

Wakati mu kuwaana n'okwebaza bba, essanyu limusukiriddeko n'ayozza ne kumunye gayite amaziga g'essanyu

Cindy okutuuka okufuna Okuyo omuwandiisi era omutendesi wa firimu yali amaze okwawukana n'abasajja abaweerako okuli; Mario Brunette taata w'omwana we, Kennie Muyisa Munnayuganda akolera e South Africa eyamucanga ne Phina Mugerwa n'abalala

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts