Friday, April 30, 2021

Balimwezo ne KCCA baggudde olutalo ku biku mu Nakawa

Balimwezo ne KCCA baggudde olutalo ku biku mu Nakawa

Bya Edward Luyimbaazi 

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n'ebiyenje nnyumba ku nnyumba mu munisipaali y'e Nakawa ne Kinnawataka .

Abafuuyira nga bakola emirimu.

Okufuyiira ebiku n'ebiyenje kukulembeddwamu Mmeeya era omubaka omulonde owa Nakawa East, Ronald Balimwezo nga kino kyavudde ku batuuze abamu mu kitundu okwemulugunya ku biku n'ensiri ezisusse mu kitundu kino ekiviiriddeko abaana okulwala endwadde ez'enjawulo okuli  omusujja  gw'ensiri wamu n'eziva ku bucaafu .

Alabudde abatuuze bano okukomya okubeera abacaafu kubanga ekikoleddwa okubalongosa  kiwonya bulamu bwabwe kubanga kati KCCA yakyusizza mu nkola nga buli muntu anasangibwa ng'ayiwa kasasiro mu myala oba ku kkubo wa kuvunaanibwa  n'okusasula engassi ya bukadde 2.

Abakoze abaakoze omulimu gw'okufuuyira.

Yagambye nti kati ali ku kaweefube w'okulaba nga buli mutuuze w'e Nakawa yeekuuma nga muyonjo  era nga baakufuuyira buli kitundu ekiri mu Nakawa. Abatuuze b'e Kinnawataka   baagambye nti ebiku, emmese, ensowera n'ebiyenje bibade bibatawaanya.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts