Friday, April 30, 2021

Ababadde basolooza busuulu ku ttaka lye batalinaako kyapa bubakeeredde

Ababadde basolooza busuulu ku ttaka lye batalinaako kyapa bubakeeredde

Bya Ssennabulya Baagalayina

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde okuggwa mu lukwe lw'ababadde batwalibwa nga bannannyini ttaka nti baabatimba bbula ng'ettaka lya Gavumenti.

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Abatuuze abasattira b'e Kabuye mu ggombolola y'e Lwabenge mu Kalungu. Enduulu bagiyisizza mu Ssentebe waabwe owa LCIII, David Balemeezi Ssegawa azituusizza mu offiisi y'akakiiko ka disitulikiti ak'ebyetta akakulirwa Irene Nampiima.

Abamu ku batuuze nga balaga engeri gye babadde batulugunyizibwa.

Abatuuze okwekengera   kiddiridde abaffamire y'omugenzi Edward Bakayaana okugenda mu kakiiko ke kamu nga baagala okuweebwa ekyapa ku ttaka lye limu bulijjo lye basoloozaako obusuulu nti lyabwe. Kino kiwalirizza Ssentebe Ssegawa n'ab'akakiiko k'ebyettaka okugenda e Kabuye basisinkane abatuuze bonna okusalira wamu amagezi okuttaanya ensonga zino nga tezinnavaamu kuyiwa musaayi.

Abatuuze nga bali mu lukiiko.

N'aba ffamire ya Bakayaana bayitiddwa nga bakiikiriddwa Lemegio Sseguya ne Lemegio Matovu batangaaze ku bwannannyini bw'ettaka eririko ebyalo bisatu n'amaka 1,780 agatudde ku bibanja ebigudde akaleka.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts