Abantu abenjawulo balumbye Ronald Mayinja okuyimba ng'awaana Museveni kyokka
n'ayingizaamu Bobi Wine mu ngeri gye baayise emulengezza bwe yamuyise omudongo.
Mayinja yakubye oluyimba olunoonyeza Museveni akalulu lwe yatuumye ‘Mzee akalulu'. Mu luyimba agamba nti Museveni alwanye entalo z'amagye n'emmundu n'aziwangula ate luno olw'akalulu ka 2021 ng'amuvuganya Mudongo!
Oluyimba lumussa mu kattu kubanga abadde yeeraga ng'omuwagizi wa Bobi Wine
kyokka nga waliwo abamulumiriza nti ali mu nkambi ya Museveni, ku ludda oluvuganya agendayo nga mbega.
Aludde nga bakimuteekako nti yalya ssente za NRM. Kyokka okubiwakanya yagenze ewa Bobi Wine nga August 6, n'asaba ekisonyiwo nti talyanga ku ssente.
Kyokka n'asazaamu okwesimbawo e Gomba ku kkaadi ya NUP. Bobi yamusiibuza ebigambo: "Oba weetonze kirungi naye si ffe tulaba emitima gy'abantu. Tubalabira ku bikolwa byabwe, ffe katukulinde''.
Kyasooka kutegeezebwa mu 2019 nti Mayinja yaweereddwa akawumbi n'emmotoka awagire NRM alekere Kalule Sengo ekifo kya Gomba East kye yali ayagala okwesimbirako ku kkaadi ya NUP. Wabula Mayinja yabiwakanya nti "bwe mba nnina ke nnali ndidde, obudde buliyogera ekituufu."
Mu luyimba, Mayinja yawaanye ebirungi Museveni by'akoze nga yeetaaga asigalewo mu kulonda kwa 2021 abinyweze ate n'alumba abamwesimbyeko nti tebalina bye
bakoze. "Museveni olaba osobola magye naye bano abadongo," bye bimu ku bigambo ebiri mu luyimba.
Aba NUP bamutabukidde Joel Ssenyonyi omwogezi wa NUP yagambye nti twasalawo
obutawa budde nsonga zitalina makulu. Ne Mayinja tusazeewo tumwesonyiwe, amaanyi tugateeke ku kusiguukulula Museveni mu buyinza.
Muhammad Ssegirinya: Mayinja atukoze bubi nnyo. Nsoose ne mpuliriza oluyimba omulundi ogusoose ne nneebuuza oba ddala eddoboozi lino lya Mayinja oba
lya muntu mulala.
Kansuubire nti oluyimba luno tebaamukase kuluyimba oba yabadde tatamidde kubanga Mayinja eyajja ku NUP ne yeetonda n'asaba ekisonyiwo, yeetaaga kusabira. Kazibwe Kapo eyawerekera Mayinja ng'agenze okwetonda ewa Bobi: Mayinja yankakasa okugenda mu NUP yali akomyewo eka, takyaddamu kwekyusa nange kwe kukkiriza okumuwerekera naye bw'aba nga ddala bwatyo bw'asazeewo nze kansirike naye muganda wange oyo atomedde.
Mayinja yategeezezza Bukedde nti ye muyimbi eyasasuddwa okukuba akalango ka Museveni. Kyokka teyayogedde ssente zaamusasuddwa. N'agamba nti, "oba n'aba NUP oba omuntu yenna ayagala, naye ansasule nja kumukubira akalango."
KUSASIRA AJAGANYA
Catherine Kusasira yagambye nti, "nze nnabagamba nti oyo Mayinja aba NUP abalimba
nga mulowooza nsaaga. Kirungi okusiima aliko by'akuwadde.
Mayinja ky'akoze kwe kusiima muzeeyi. Bangi abalya ne badda mu kwebuzaabuza, abalala tebaagala kuvaayo mu lwatu. Mayinja musanyukiddeko era abalaze nti Museveni y'asinga. Mulinde n'abalala aba NUP bajja."