Hassan Ndugga ayiiyizza oluyimba olusiibula Pasita Yiga ne lukaabya abantu. Mu luyimba luno olw'eddakiika ettaano (5) olutuumiddwa ‘Nsigadde mu matigga', Ndugga agamba nti Pasita Yiga abadde taata era asumbye n'okuyamba abantu bangi kati abasigadde mu bbanga.
Atenderezza ebirungi Yiga by'alese akoze ku nsi era mu luyimba luno alagiddemu gyenvudde wa Yiga (okuva e Masaka, okuyingira Kampala ew'omugenzi Livingstone Kasozi gye yatandikira okuyiiya obulamu, okutuuka lwe yeerandiza n'afuuka omusajja ow'amaanyi era ow'ettuttumu mu ggwanga).
Wadde ng'enteekateeka yabadde ya bayimbi abaaliko mu kibiina kya Pasita Yiga ekya Revival Band okukola oluyimba olwa wamu, Ndugga eyaliko mu bbandi eno yalabye banne tebasalawo kwe kukozesa obwangu n'ayingira sityudiyo era oluvannyuma lw'essaawa mukaaga yavuddeyo n'oluyimba oluwedde kati oluli ku mimwa gy'abawagizi n'abagoberezi ba Pasita Yiga.
Ndugga obwedda ayita Yiga muzeeyi agamba nti nga abali mu nsiike y'okuyimba basubiddwa omuzadde, omuntu abadde abateekamu ssente ate nga munnabitone munnaabwe kuba abadde muyimbi, muyiiya ate nga muwandiisi wa nnyimba n'emizannyo.
Ebimu ku bigambo ebiri mu luyimba :
Bino njogera nga akulaba. Tubadde baana gy'oli musumba waffe ebyakusoboko akubeerenga, omwoyo agutuuze mu batuukirivu. Tubadde ndiga zo nga ggwe amanyi okusumba. Tuli eno twemagaza. Abayimbi abazannyi ba katemba bonna kw'ossa abadongo otulese mu biwoobe. Nsula nkaaba naayitanga ani amanyi ebyange, Yiga wummula mirembe. Olumbe luno lumaze abange ate abalungi bokka Nsigadde mu matigga. Omuyiiya w'ennyimba, omuwabuzi asinga, nnannyini Revival bbandi. Yiga wummula mirembe. Abadde amanyi okusaaga... N'ebirala.