BYA JALIAT NAMUWAYA
Okutongoza kampeyini eno kyaddiridde okunoonyereza okwakolebwa mu biseera by'omuggalo okwalaze nti obutabanguko mu maka bweyongera nnyo era abakyala bangi baayita nnyo mukutulugunyizibwa okutagambika.
Omukolo ogw'okutongoza kkampeyini eno gwayindidde mu Kampala era nga gwetabiddwako ababaka ba Palamenti , abakulembeze ab'ennono , abakwasisa amateeka , abalamuzi n'abalala.
Minista w'obuwangwa mu bwakabaka bwa Buganda Prosperous Nankinga Kavuma yagambye nti Buganda yatandika dda kuddimu ery'okumalawo obutanguko mu maka, kyokka n'ategeeza nti si bakukoowa okubunyisa enjiri eri abasajja okukomya okutulugunya abakyala baabwe.
Omubaka omukyala ow'e Kasese , Winne Kiiza yannyonyode nti bo nga Palamenti bafubye okukola buli kisoboka okussaawo amateeka agakugira abaami okutulugunya bakyala baabwe yadde nga n'abaami nabo oluusi batulugunyizibwa.
Yasabye abakyala bulijjo obutekkiriranya na kutulugunyizibwa wabula beekubirenga enduulu eri abakwasisa amateeka okusobola okuyambibwa.