Wednesday, December 30, 2020

Munnamateeka Opio ayimbuddwa

Munnamateeka Opio ayimbuddwa

MUNNAMATEEKA Nicholas Opio alwanirira eddembe ly'obuntu ayimbuddwa okuva mu kkomera e Kitalya kkooti y'e Nakawa gye yamusindika ku limanda oluvannyuma lw'okumuggulako omusango ogw'okukusa ssente.

Abamu ku bannamateeka nga bali mu kkooti ya Buganda Road Opio gye baamuyimbulidde.ku kakalu ka kkooti .

Omulamuzi Jane Kajuga owa kkooti Enkulu ewozesa abalyake yakkirizza Opio okweyimirirwa oluvannyuma  lwa bannamateeka be abakulembeddwamu David Mpanga okuteekayo okusaba kwabwe nga baagala ayimbulwe.

Mu kusaba kwabwe, Mpanga yagambye nti omusango oguvunaanibwa Opio gusobola okweyimirirwa era amakaage gamanyiddwa.

Opio n'abooluganda lwe mu kkooti.

Omulamuzi Kajuga awakanyizza ebyogeddwa omuwaabi wa gavumenti Ariong n'agamba nti wadde ssentebe  w'e Kiwaatule tamanyi maka ga Opio wabula amumanyi asula mu kitundu kye. Kino kiraga nti amumanyi era asula mu kitundu ekimanyiddwa era tewali bujulizi obulaga nti alina amaka wabweru w'eggwanga.

 Agambye abantu baaleese okumweyimirira batuukiridde era mikwano gya Opio emirimu gye bakola gya buvunaanyizibwa.  Kajuga agambye nti Opio muntu agoberera amateeka tayinza kutaataganya bujjulizi nga abooludda oluwaabi bwe baategeezezza.

Bwatyo amukkiriza okweyimirirwa ku bukadde 15 ez'obuliwo ate abamweyimiridde n'abalagira okusasula obukadde 100 ezitali za buliwo.

 Amulagidde okweyanjulanga ew'omuwandiisi wa kkooti ewozesa abalyake buli luvannyuma lwa wiiki bbiri era alina  n'okutwalayo Paasipooti  ye.

 

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts