Tuesday, November 10, 2020

Abaagala okugenda ku kyeyo okukola batadde akazito ku Gavumenti

Abaagala okugenda ku kyeyo okukola batadde akazito ku Gavumenti

ABAWALA abaagala okugenda ebweru w'eggwanga okukuba ekyeyo batabukidde Gavumenti lwa kulwawo kubaggulawo nga bagamba bakooye okutuula wano kuba tebalina mirimu.

Bano baakedde kulumba ofiisi za minisitule y'abakozi n'ekiwandiiko okuli okwemulugunya kwabwe nga bagamba nti tebalina mirimu.

Kino kivudde ku minisitule ekola ku nsonga z'ekikula kya bantu ne mirimu okuwera okutwala abantu okukolera mu mawanga g'e Bulaaya naddala abagenda ku kyeyo mu mawanga g'omu Buwarabu nga Saudi Arabia.

Obubaka obuli mu kiwandiiko kye bakwanze Minisita bulaga nti abantu 90 ku 100 abagenda okukuba ekyeyo babeera bawala bato nga bano abasinga be bamaama ne bataata ewaka nga baba bagenze kunoonya engeri gye basobola okunoonyeza abaana baabwe eky'okulya.

Abalala baba tebaasoma kumalayo ate ng'abandi tebaasomerako ddala so nga baba batuuse mu myaka egikola era tebasobola kufuna mirimu mu ggwanga wabula okugenda ebweru okukuba ekyeyo.

Bagamba nti okubagaana okugenda okunoonya kye bakola awalala kireetawo ebbula ly'emirimu mu ggwanga so nga balina famire z'okulabirira.

Bagamba nti buli lunaku abawala abato bangi bakukusibwa okutwalibwa mu mawanga g'ebweru okukozesebwa obuddu ekintu ekikyamu ku bulamu bwabwe naye nga kino kiva kuba nti gavumenti yabagaana okugendayo mubutongole.

Bagamba nti abantu okugenda okukolera ku mawanga kibadde kikendeezezza ku bbula ly'emirimu mu ggwanga mu bavubuka.

Kino kye kibawalirizza okuvaayo ne beekubira omulanga eri Minisitule ekutunule mu nsonga zaabwe eddemu okukkiriza kampuni ezitwalo abakozi ebweru okuddamu okukola kikendeeze ku bbula ly'emirimu mu ggwanga.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts