Abeesimbyewo mu disitulikiti y'e Lwengo bakiikidde akakiiko k'ebyokulonda ensingo nga bawakanya ennaku 60 ezibaweereddwa okunoonyezaamu akalulu.
Bano kubaddeko Dr.Sarah Nkonge Muwonge ayagala ekifo ky'omubaka omukazi owa Lwengo, Olivia Mugabe ayagala ekifo ky'omubaka owa Bukoto West, Muhammed Muyanja n'abalala balaze obulumi bwe bagenda okuyitamu nga banoonya akalulu mu nnaku ezo ezirambikiddwa ng'ate ebyalo ne disitulikiti gye bagenda okutalaaga nnene.
Ye akulira ebyokulonda mu Lwengo Ibrahim Salim Kazindo abasabye obutageza kukuba nkung'aana okutuusa nga balagiddwa mu butongole.