Hady akooye laavu y'ewala. Afunye omusajja omulala n'amwanjulira bakadde be nga bwe yeewaana nga bwali mu ‘'laavu supa". Lyabadde ssanyu jjereere nga mwanamuwala Haddy Ssengo ayanjulira bakadde be omusajja we omupya Brig Gen Jeff Mukasa. Ono ye dayirekita w'ekitongole ekirwanyisa obutujju mu ggwanga ekya Counter Terrorism.
Omukolo guno ogwagasse okukyala, okwanjula n'okubawoowa gwabadde mu maka ga Hajji Badru Ssengoba mu Kalagi e Mukono ku Ssande. Ssengo eyazannyirako mu Ebonies okwanjula Brig. Gen. Mukasa kaabadde kabonero akalaga nti laavu ye ne Fred Zink Kinene abeera e Canada era maneja wa Jose Chameleone aweddewo.
Wadde ng'amulinamu omwana, Hady yategeezezza nti kati enkolagana basigazza ya taata wa mwana na maama wa mwana. "Tekinyuma kubeera mu kintu nga tokyeyagaliramu. Ebbanga lye mmaze ne Fred laavu yaffe ebaddemu amakuuli mangi kale ng'omuntu omukulu otuuka ekiseera ekyo n'okivaamu ofune ku ssanyu.
Wadde omukolo ogwo yagwekanze naye ekirungi nali namugamba nti nze ‘ekintu nkitadde' kale simusuubira kuba nga yayisiddwa bubi era naye musabira mirembe na buwanguzi mu bulamu. Yagambye nti wadde ono musajja mujaasi, ebitiibwa bye bikoma ku mulimu olwo awaka n'akola gwa kundaga laavu.
Source