OMUYIMBI Bebe Cool atadde akaka n'ayanika enkwe n'enkokola eziri mu NRM ng'abanene balemesa abawagizi ba Pulezidenti Museveni okumutuukako ng'ate baludde nga beebakola ennyo okumunoonyeza akalulu.
Wadde ku mukolo gw'okutongoza manifesito ya Pulezidenti Museveni nabaddeyo ne nnyimba naye sagenzeeyo kuyimba kwokka kubanga nze mu NRM ninaayo emirimu gye nkola ne bannange emikulu .
"Nabadde ngenze kuloopera mukulembeze wa ggwanga Yoweri Kaguta Museveni enkwe n'entalo eziri mu nda nga waliwo abawagizi ba Pulezidenti abatafiiriddwako ng'ate bakulu nnyo era namusabye omukulembeze bateekewo okutabagaana mu kibiina okwamangu"Bwatyo Bebe Cool bwategeezezza.
Nze omuwagizi wa NRM gwe mmanyi si be bano abanene bokka bewalabye ku katuuti naye njagala Museveni amanye nti balina okufiira dda ku bantu baffe aba wansi okuva ku LC 1, okutuuka kuba ssentebe ba disitulikiti abanoonya akalulu ka NRM okuva nju ku nju era emyaka gyonna baabeerawo ku kyalo nga balwanirira akalulu ka Muzeeyi.
Nkimaanyi nti mu NRM mwokka simwemuli ekikono ne mu bibiina ebirala gyebiri. Era buli ayingira eby'obukulembeze manya nti eriyo ebikono byojja okusanga naye mu bukulembeze olina okumanya nti ani alina omulonzi omutuufu yooyo kaada ali wansi ku kyalo ate ssaawa eno eyerabiddwa.
Mmaze emyaka ena n'ekitundu okuva lwetwayimba tubonga naawe ng'abantu babuuza biki byenkola ne Museveni , nze abantu bantuukako mangu ne bambulira ebibaluma ne mbitwalira omukulembeze w'e ggwanga era ne mubulira nti wano twanguwe okubikolako era n'abikola.
Naye ddiiru zisusse mu NRM nga kati abantu ababadde bamaze ebiseera nga bakolerera ekibiina tebakyalabwa kubanga ekyasinze okunnumya toyinza kukkiriza muntu nga Ronald Mayinja amaze ebbanga lya myaka kkuumi ng'avumirira Pulezidenti Museveni baleme kumuwa kalulu n'okumulaga nga atalina ky'akoledde Uganda ate n'oba nga gw'osooka okuwa omukisa ansooke okuyimba olw'okuba mwakoze ddiiru ya bukadde 200.
Olw'okuba yayimbye akayimba ng'amaze obutakkaanya mu kibiina gye yabadde ate n'omuleeta okuyimba ku mukolo gwaffe nga Pulezidenti Museveni atongoza manifesito ye nansooka ku katuuti ng'ate talina byayimba.
"Kino sikyogerwa lwansalwa yonna kubanga ne Mayinja , Kavuma ne Rose Namayanja omuwanika wa NRM na bibagambye nga bonna weebali naye ekirungi Omukulembeze nasobodde okubimutegeza wadde abanene abamu baawulidde bubi nga nfunye omukisa okukimugamba butereevu naye nze ekirungi Museveni ammanyi ng'omwana era bwemwagala ne bw'oteraayo ekikona nsobola okumufuna ku ssimu" Bwatyo Bebe Cool bwategeezezza.
Bebe Cool awadde abantu nga "Full Figure" nti balina okumanya NRM gye bakayingiramu nti mulimu enkwe ne nkokola era bw'otuuka ku mulyango ne bakugaana okuyingira towaliriza kubanga obeera weswaliza bwereere ate nga waliwo abamawulire.