LEERO ku Lwokubiri nga November 3, 2020, abalonzi b'omu Amerika baakubukeereza nkokola okukuba akalulu akagenda okusalawo oba basigala ne nnagagga Donald Trump 74, emyaka emirala ena oba bayingizaawo musajja wa Obama, Joseph ‘Joe' Robinette Biden Jr 77.
Akalulu we kaatuukidde nga buli nkambi ewera ; Bannakibiina ky'aba Democrats beesunga buwanguzi nga bagamba nti Joe Biden alinze kulayira kyokka n'aba Republican bawaga nti Trump okufaananako nga mu 2016, alindidde mu kkoona akube Biden akalulu nga bwe yakuba Hillary Rodhan Clinton, 73.
Amerika erina abalonzi abeewandisa 239,247,182 wabula we bwakeeredde ku Mmande ng'abalonzi 93,131,017 be baakalonda mu nkola ey'okulonda ng'omuntu asinziira waka we gye bamuweereza akalulu mu bbaluwa n'asalawo gw'alonda oluvannyuma n'aweereza akalulu ke mu Posita.
1,224 BE BAVUGANYA KU BWAPULEZIDENTI Abatagoberera byakulonda kwa Amerika balowooza nti Trump ne Biden be bokka abali mu lwokaano lw'abavuganya ku bwapulezidenti. Okusinziira ku kakiiko k'ebyokulonda mu Amerika aka Federal Election Commission (FEC), abantu 1,224 okuli Trump ne Biden be bavuganya mu kalulu kyokka okuvuganya kuli wakati wa Biden ne Trump abasigadde mperekeze.
Okulonda kuno kusuubirwa okussaawo likoda ng'okukyasinze okujjumbirwa era okusinziira ku Polofeesa Michael McDonald, owa University of Florida, abantu abasoba mu bukadde 150 be basuubirwa okukuba akalulu nga kino akyesigamizza ku ngeri abalonzi gye bajjumbidde okulonda ng'olunaku olw'akalulu terunnatuuka.
Mu kulonda kwa 2016 abantu abaakuba akalulu bonna awamu baali obukadde 137 ku balonzi 211 abaali beewandiisa ekiseera ekyo. Okwawukanako ku nsi endala ng'omuntu asinga okuyoola obululu obungi y'alangirirwa ku buwanguzi kasita asussa ebitundu 50 ku 100, mu Amerika omuntu asobola okuwangula obululu obusinga obungi kyokka ate amuddiridde n'alya obwapulezidenti.
Ekyo kisoboka bwekiti: Mu demokulaase wa Amerika, avuganya ku bwapulezidenti asobola okufuna obululu obusinga obw'abalala bonna b'avuganya nabo, kyokka n'atawangula bwapulezidenti olw'enkola ey'okulonda etali ya bulijjo Abamerika gye bagoberera era kino kyali kibaddewo.
Mu kulonda okwakaggwa 2016, Hillary Clinton yafuna obululu 65,853,514 ( ebitundu 48.2) Trump n'afuna 62,984,828 (ebitundu 46.1) kyokka Trump n'alangirirwa ku buwanguzi. Kino kitegeeza nti Clinton yasinga Trump obululu 2,868,686 kyokka ate Trump n'alangirirwa.
Ne mu kalulu ka 2000 kyaliwo, eyali omumyuka wa Pulezidenti al Gore bwe yavuganya n'eyali Gavana w'e Texas George W. Bush Jr, akalulu bwe kaakubwa, Al Gore ow'ekibiina kya Democrats yafuna obululu 50,999,897 ( ebitundu 48.38%), George W. Bush owa Republican n'akwata kyakubiri n'obululu 50,456,002 (ebitundu 47.87%) Lwaki omuntu asobola okufuna obululu obusinga obungi kyokka n'atalya bwapulezidenti?
Obutafaananako ng'okulonda kw'abakulembeze abalala mu Amerika abalondebwa obutereevu omuli ba Gavana, ababaka aba Senate, House of Representatives n'abalala, Pulezidenti n'omumyuka wa Pulezidenti tebalondebwa butereevu. Okusinziira ku mukutua www.fec.gov/ , ogw'akakiiko k'ebyokulonda mu Amerika akayitibwa Federal Electoral commission, Pulezidenti wa Amerika n'omumyuka wa Pulezidenti balondebwa okusinziira ku bungi bw'ebifo ebiyitibwa electro Votes nga bino byesigamizibwa ku bungi bw'abantu mu ssaza, kw'ogatta ba Senators 100 bonna awamu abakola kye bayita "Electoral College".
AMASAZA AGASALAWO AKALULU MU AMERIKA Amerika erina amasaza 50 n'ekibuga ekikulu Washington DC wabula ebibiina ebibiri ebisinga amaanyi; ekya Democrats ne Republicans buli kimu kirina essaza gye kyeriisa enkuuli kyokka waliwo amasaza gannampawengwa. Mu kalulu kano amasaza gannampawengwa agaakazibwako erya ‘Swing States' gali 13: Arizona, Georgia, Florida, Iowa, Michigan, Minnesota, Nevada, New Hampshire, North Carolina, Ohio, Pennsylvania, Texas, ne Wisconsin.
Okunoonyereza okukoleddwa mu masaza gano ng'ebula olunaku lumu okulonda kubeewo, kulaga nti Biden aleebya Trump mu masaza : Arizona, Florida, Michigan, North Carolina, Pennsylvania, ne Wisconsin ate Trump aleebya mu Ohio ne Iowa wabula wakyaliwo okuvuganya okw'amaanyi e Texas ne Minnesota.
BIDEN ANAAWANGULA TRUMP ? Okunoonyereza mu balonzi ng'ebula ennaku mbale kulaga nga Biden alina enkizo ku Trump kyokka mu nnaku ezisembyeyo, Trump azze yeeyongera amaanyi. Ebyakasembayo okuva mu kunoonyereza okukoleddwa ebitongole ekya Wall Street Journal/ NBC News kwalaze nti ssinga akalulu kaakubiddwa ku Mmande Joe Biden yandikawangudde n'obululu 52% ate Donald Trump n'akwata kyakubiri n'obululu 42.%. Wabula, kino Biden tekimweyinuza.