GAVUMENTI evuddeyo ku babbi ba vanilla atannaba kukula n'etegeeza nti eri mu kubaga amateeka amakakali agagenda okubavunaana.
Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa minisita w'ebyobulimi n'obulunzi, Vincent Bamulangaki Ssempijja, baafunye amawulire amabi ag'abantu ababba vanilla omuto okuva ku misiri ne bamutunda.
Kino yagambye nti ng'oggyeeko okufiiriza abalimi obutafuna ssente nga bwe baba basuubira, kyonoona n'erinnya ly'eggwanga.
Uganda ekwata ekifo kyakubiri mu nsi yonna okulima vanilla ow'obutonde ng'eddirira Madagascar. Olw'okuba ng'akawoowo ke bayaayaanira mu vanilla kabeerawo ng'akuze, kitegeeza nti bw'akungulwa nga tannakula kikendeeza omutindo. Vanilla addirira Saffron okuba ow'obuseere mu nsi yonna.
Ssempijja yagambye nti embeera eno basazeewo okuginogera eddagala nga babaga amateeka amakambwe agagenda okukwata ababba vanilla okuva ku misiri. Poliisi n'abakulembeze basabiddwa okunoonya abeenyigidde mu bubbi basobole okuvunaanibwa mu mateeka.
Aga Sekalala Senior ye ssentebe w'abalima n'okutunda Vanilla mu Uganda abeegattira mu kibiina kya VANEX (The Association of Vanilla Exporters of Uganda).
Source