ENGUUDO okwetoloola Kampala zaafuuse ddwaaniro ng'abaserikale ba poliisi, abajaasi ba miritale n'aba LDU balwanagana n'abawagizi ba Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine eyeewandiisizza okuvuganya ku bwapulezidenti.
Kyagulanyi abaserikale ba poliisi n'aba miritale baakedde kumukima mu maka ge e Magere mu Munisipaali y'e Kasangati okumutwala okwewandiisa e Kyambogo.
Yali yasaba ssaawa 4:00 ez'oku makya ku Lwokubiri nga November 3, 2020. Yafulumye ananye mu ssuuti eya kikuusikuusi, essaati enjeru munda n'ettaayi emmyufu. Yawerekeddwako mukyala we, Barbie Itungo Kyagulanyi eyabadde ayambadde ng'omukozi w'oku nnyonyi.
Yayambadde essuuti ey'ekikyala enjeru eriko amapeesa amamyufu n'ateekako akamuli akamyufu ku mukono ogwa kkono olwo n'alyoka assaako enkoofiira emmyufu ku mutwe ne bafuluma ennyumba okwolekera Kyambogo ku ssaawa nga 2:30 ez'oku makya. Okuva e Magere okutuuka ku Spear Motors, baatambuliddewo essaawa bbiri n'ekitundu. Batuseewo ku ssaawa 4:30 nga Patrick Amuriat Oboi owa FDC amaze okuyitawo.
KYAGULANYI YE YABADDE ALINA OKUSOOKA AMURIAT Olwavudde e Magere, baafulumidde ku Munaana ku lw'e Gayaza ng'abawagizi be bwe babeegattako era wano poliisi we yatandikidde okwenyoola nabo. Bwe batuuse e Kitetikka awamanyiddwa nga ku Mbuzi, baamwambusizza okuyita e Kyanja ne bagwa e Kisaasi ne basalamu okutuuka e Ntinda.
Okumpi ne Ndere Center, poliisi yakubye ttiyaggaasi omuvubuka Richard Katamba n'akwata akakebe we kaabadde kagudde akaddize abaserikale ne kamukuba engalo zonna omukono gwa ddyo ne zisesebbuka n'atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago. Embeera e Ntinda yasusse ng'abawagizi abaabadde bakwatiridde ku makubo bawabira ku Kyagulanyi.
Wano yabadde aggyeyo omutwe nga naye agenda abawuubirako era poliisi yatandise okuboggoza emmundu ezikasuka ttiyaggaasi. Okuva e Ntinda okutuuka ku Spear Motors, ekitundu kyabuutikiddwa omusinde n'okujugumira okwabadde kukolebwa emmundu ezikasuka ttiyaggaasi.
Yatuuse ku Spear Motors e Nakawa ng'akulembeddwa aba boda boda n'abawagizi be era wano, poliisi yakubyewo ttiyaggaasi n'atwaliramu n'enkambi y'e Naggulu abaana n'abakazi b'abaserikale ne babuna emiwabo. E Nakawa abawagizi ba Kyagulanyi abaabadde bakwatiridde ku kkubo basoose kwenyoola na baserikale.
EKYABADDE E KAMPALA N'E KAMWOKYA Ku Mini Price, abawagizi be Kyagulanyi we baakubye enkambi olwo ne bawagukako abaakutte ku Namirembe Road, abalala ne bambuka okutuuka ku Arua Park ate abalala ne bakwata ku Ben Kiwanuka okutuuka ku Shoprite n'abalala ne bambuka okutuuka ku Mutaasa Kafeero nga bwe bakutte ebipande bya Kyagulanyi n'abalala nga bwe batumbudde ennyimba ze kwe baabadde bazinira nga n'abamu bwe bafuuwa amakondeere.
Kino, kyaleese akalippagano k'ebidduka okutuusa poliisi okuva ku CPS lwe yatuuse okubagumbulula n'ebakubamu omukka ogubalagala n'abamu ne bakwatibwa ne batwalibwa ku CPS ne poliisi ya Mini Price. Mu kavuvung'ano kano, omu ku bawagizi akakebe ka ttiyaggaasi kaamukubye eriiso ne kamuyuza oludda n'atwalibwa mu ddwaliro.
Ewa Kisekka, nayo abeebyokwerinda baakedde kusalako ne bakuba ttiyaggaasi n'amasasi ng'abasuubuzi bajaganya olwa Bobi okulangirirwa nti awandiisiddwa mu butongole. Baakutte abantu bataano. Ebizimbe byonna baalagidde abasuubuzi babiggale nga tebakkiriza kidduka kyonna kisala mu kitundu kino.
Abantu abasinga mu Kampala, baabadde ku ttivvi nga balaba ebigenda mu maaso. Oluvannyuma lw'okuwandiisibwa, Bobi Wine yabadde asuubirwa okugenda ku ofiisi ze e Kamwokya era eno, abawagizi be abamu gye baabadde bakung'aanidde nga bamulinze abanjulire enteekateeka z'alina eri eggwanga.
Poliisi yabakubyemu omukka ogubalagala ne babuna emiwabo kyokka baabadde badduka bwe badda emabega n'eddamu okubagoba. Ne ku lw'e Ntebe, poliisi yakedde kunyweza byakwerinda okuva e Kibuye okutuuka e Najjanankumbi. Yatadde emisanvu ku Kobil e Kibuye okusalako aba FDC era yakutte Dr. Stella Nyanzi, Harold Kaija n'emmotoka ye baagikutte n'etwalibwa ku poliisi e Katwe.
Akavuyo keeyongedde abavubuka bwe baakumye omuliro mu luguudo nga kkonvoyi ya Museveni eyitawo edda e Ntebe n'asooka ayimirira okumala ekiseera nga poliisi egezaako okuzikiza omuliro.
Poliisi yakutte abamu ku bavubuka abagambibwa okwenyigira mu ffujjo lino ne batwalibwa ku poliisi e Katwe era wano poliisi eyabadde eduumirwa Abraham Niwagaba atwala poliisi y'e Katwe baakubye munnmawulire wa Bukedde TV Ronald Kakooza olw'okukwata ebyabadde bigenda mu maaso.