Saturday, November 14, 2020

Kitalo ! Omubaka owa Munisipaali y'e Kamuli afudde Corona

Kitalo ! Omubaka owa Munisipaali y'e Kamuli afudde Corona

OMUBAKA abadde akiikirira Munisipaali y'e Kamuli Rehema Watonola  afudde obulwadde bwa Covid 19.

Ono abadde akomyewo okukiikirira ekitundu kino naye ng'ali ku bwannamunigina oluvannyuma lw'okuwangulwa mu kamyufu ka NRM Masitula Namatovu.

Ono ye mubaka owookubiri okufa obulwadde bwa Covid 19 ng'eyasooka  MP Faith Alupo eyali akiikirira abakazi mu Pallisa Disitukiti eyafa mu September w'omwaka guno.

Watongola 671x403 (1)

Ku Lwokuna nga November 12, Uganda yabadde erina abalwadde  15,402 abalwadde ba Covid-19, noolwekyo okufa kwa  Watongola kwongeddeko ku balwadde okuva ku 144 kwe tubadde.  Abasusse bali 8,038 .



Mu 2017, Watongola yawangula eky'obubaka wa palamenti obwa  Kamuli munisipaali oluvannyuma lw'okuwangula abantu 4 be yavuganya nabo okwali n'owa (FDC),  Proscovia Salaamu Musumba.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts